Ekyana kirina ‘work’..

Mu kiseera ng’eggwanga livuddeyo okulwanyisa abakulembeze b’eddiini abafere abeyongedde obungi, nate Paasita ali mu myaka 35, akoze ebyafaayo.
Okusinzira katambi akali mu kutambula ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa WhatsApp, Paasita akoze ebintu eby’enjawulo wakati mu kusaba.
Mu vidiyo, Paasita wadde tamanyikiddwa mu kiseera kino, ekyana kimusabbalazza wakati mu kusaba Omutonzi.
Paasita yakutte ekyana mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo n’okusingira ddala amabeere mu ngeri y’okuteeka ekyana mu muudu y’okusinda omukwano.
Mu vidiyo, Paasita yatambuza emikono mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo, ng’ekyana kiddamu ekigambo kimu ‘Amen’.

Ng’omusajja omulala yenna, ne Paasita yalabiddwako nga waya, omuzimu gugikutte nga n’empale zitobye mu ngeri y’okulaga obusajja wakati mu kusaba.

VIDIYO!

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2022/09/WhatsApp-Video-2022-09-28-at-5.26.23-PM.mp4

Wiiki ewedde, Poliisi y’e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso yakutte Paasita Geoffrey Ssemwogerere owa New Jerusalem Church e Seguku ku misango gy’okuwamba abantu.
Poliisi yazudde abantu abasukka 10 okuli abasajja, abakyala n’abaana nga bali ku njegere mu kkanisa mu ngeri emenya amateeka.
Mu kunoonyereza, Ssemwogerere agamba nti abadde asibira abantu ku njegere okubasabira okuvaamu emizimu wabula yakwatiddwa.

Ate ku ntandikwa y’omwezi guno Ogwomwenda, Poliisi y’e Hoima yakutte Paasita Dennis Kintu ku misango gy’okukuba abantu kibooko mu kkanisa.
Paasita Kintu n’omuyambi we Bryan Businge yaguddwako emisango 17 egy’okukuba abantu n’okukusa abantu.

Ebirala ebifa mu nsi – https://www.youtube.com/watch?v=Bzv_ZGbThRQ