Omusajja wa Takisi ali mu myaka 35 asigadde mu maziga, malaaya amubyeko ebintu byonna.
Owa Takisi ategerekeseeko erya Mike avudde mu loogi ng’ali mu maziga, malaaya bw’atutte waleti omubadde ebintu eby’enjawulo.
Mike agamba nti yagenze mu loogi ne Malaaya ku ssaawa nga 6 ez’ekiro nga basoose mu baala mu bitundu bye Makindye.
Nga batuuse mu loogi, malaaya yasoose mu kunaaba era amangu ddala, okusinda omukwano kwatandikiddewo okutuusa ku ssaawa nga 7 ez’ekiro.
Mike wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti agenze okudda engulu okuzukuka, nga malaaya yagenze dda.
Okwekebejja mu nsawo, nga Waleti etwaliddwa, essimu ya ‘Smart Phone’, engatto ne t-shirt.
Agamba mu waleti mubaddemu ssente shs 200,000, Densite y’eggwanga, Driving Permit ssaako n’ebiwandiiko ebirala.
Mike agamba nti yasasudde ssente shs 20,000 eza loogi ate malaaya yabadde amusabye ssente 25,000 okusinda omukwano okutuusa enkya ya leero.
Wadde abadde aswadde ng’ali mu maziga, agamba nti malaaya yamuggye mu bitundu bye Katwe.
Mike afulumye Loogi mu bitundu bye Kansanga okugenda okunoonya engatto ne ssaati, okudda awaka wakati mu kuswala.
Abamu ku batuuze n’okusingira ddala abakyala, batabukidde Mike nti kimugwanidde kuba kiswaza omusajja omukulu, okudda mu Bamalaaya ate ng’alina omukyala awaka.
Abakyala bagamba nti kiswaza omusajja omukulu nga Mike, okutwalira omukyala ebirwadde era malaaya okutwala ebintu bye, kimugwanidde.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=tt4LF4pSMrI