Mu nsi y’omukwano, ekisenge kintu kikulu nnyo era kiyamba nnyo mu nsonga z’okutambuza akaboozi.

Omuntu yenna singa atuuka mu kisenge nga kirabika bulungi, kireeta muudu y’okusinda omukwano.

Olunnaku olwaleero, tukuleetedde ebiyinza okuyamba okulongoosa ekisenge, okusikiriza munno.

1 – Amasuuka ne bulangiti okulabika obulungi!

Omuntu singa atuuka mu kisenge nga kirabika bulungi, kimwanguyira okufuna muudu. Amasuuka ne bulangiti birina okulabika obulungi essaawa yonna.

Ekisenge

2 – Okuteeka ebimuli mu kisenge!

Ebimuli nga biwunya bulungi, biyamba nnyo okuleeta muudu mu baagalana. Bw’oba olina ku ssente, osobola okubiteeka mu kisenge okwongera okulabika obulungi.

3 – Obuyonjo!

Omuntu yenna alina okulaba nti ekisenge kiyonjo, temuli ttaka, nabbubi. Ekisenge nga kirongoseddwa bulungi kiyamba nnyo omukyala oba omusajja okufuna muudu y’okusinda omukwano.

4 – Amataala!

Waliwo amataala agayambako mu kuteeka munno muudu. Singa ofuna omukyala oba omusajja, alina okutegeera ebiyinza okumusikiriza okulowooza ku nsonga z’okwegatta.

5 – Ebikozesebwa mu kaboozi!

Okulaga nti ddala oli mwetegefu okudda mu kaboozi, oyinza okuteeka ebintu nga Kondomu, ebibala, amazzi n’ebirala mu kisenge. Singa kabiite eyingira mu kisenge nga wetegese bulungi, kimwanguyira okudda mu kaboozi.

6 – Sikirungi kuteeka TV mu kisenge!

Okuteeka TV mu kisenge, kiyinza okulemesa munno okuwa ebirowoozo byonna singa ku TV kubaako ebimuwa essanyu. Kirungi okulaba mwena TV mu ddiiro nga singa mugenda mu kisenge, buli omu aba alowooza kaboozi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Bzv_ZGbThRQ