Babadde mu bbaala…
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kasenene mu disitulikiti y’e Luweero, omuliro bwe gusse abantu babiri (2) nga busaasaana enkya ya leero.
Abattiddwa kuliko Abdullah Ssenyange myaka 21 n’omwana mwaka gumu owa Musa Kabuye omutuuze ku kyalo Kasenene mu ggoombolola y’e Bamunanika.
Okusinzira ku muddumizi wa Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero Living Twazagye, Kabuye n’omukyala, baalese Ssenyange n’omwana awaka nga beebase ne bagenda mu bbaala okulya obulamu.
Wabula ku ssaawa nga 9 ez’ekiro, Kabuye yafunye amawulire nti ennyumba yabadde ekutte omuliro era abatuuze webatuukidde okutaasa nga Ssenyange n’omwana z’embuyaga ezikunta, nga bonna bayidde, bafuuse bisiriiza.
Kabuye, yasobodde okutaasa Pikipiki wabula yasimatuse n’ebisago eby’amaanyi ddala era mu kiseera kino ali mu ddwaaliro.
Poliisi esobodde okusindika emirambo gyonna mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa era egumizza abatuuze ku ky’okunoonyereza, okuzuula ekivuddeko omuliro.
Wabula ssentebe wa LC 5 e Bamunanika, Fred Ssemwanga, agamba nti ebiriwo biraga nti omuliro gwavudde ku musubbaawa (candle) ogwalekeddwa mu nnyumba nga gwaka mu kiseera nga Ssenyange n’omwana bagenda okwebaka.
Ate Poliisi ewanjagidde abatuuze, abalina amawulire gonna ku kiyinza okuba nga kyavuddeko omuliro, okuyambagana mu kiseera kino eky’okunoonya amazima.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=tt4LF4pSMrI&t=121s