Poliisi y’e Jinja ekutte abasajja babiri (2) ku misango gy’okwefuula abakozi mu kitongole ky’amasanyalaze ekya UMEME ne benyigira mu kubba mita za Yaka.

Abakwate abagamba nti bakozi ba UMEME kuliko Erick Kiyaga ne Derrick Obuddi nga bonna myaka 25, era bakwatiddwa ku kyalo Bwase mu Tawuni Kanso y’e Buwenge mu disitulikiti y’e Jinja.

Mu kukwatibwa, basangiddwa n’ebintu eby’enjawulo omuli ebiwandiiko ebiginjirire, waya za Solido, mita Box ez’enjawulo nga bali ku Pikipiki namba UFN 506E.

Ku kyalo Bwase, batuuse ne bategeeza abatuuze nti batumiddwa okukyusa Mita enkadde, bateekewo mita empya, kyokka abatuuze, webakoze okunoonyereza n’okwebuuza ne bazuula nti abantu abo, bafere ne batemya ku Poliisi.

Wabula ssentebe wa LC 3 mu tawuni Kanso y’e Buwenge Hassan Kinosa, awanjagidde abatuuze okwongera okuba bakalabalaba mu kitundu kyabwe, okwewala abafere, abayinza okudda mu kitundu kyabwe, okuddamu okubatigomya.

Ate James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kira, agamba nti abakwate baguddwako emisango 2 omuli okwenyigira mu kubba n’okufuna ssente mu lukujjukujju.

Ate Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero, etandiise okunoonyereza ku mmundu eyazuuliddwa oba ddala baludde nga begyeyambisa mu ngeri y’okumenya amateeka.

Emmundu ekika kya AK47 yazuuliddwa mu ffaamu y’omutuuze Kintu, ku kyalo Kyangabakama mu Tawuni Kanso y’e Kamira mu disitulikiti y’e Luweero olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri nga 30, August, 2022.

Yalabiddwa basikaali abaludde nga bakuuma ffaamu era amangu ddala baasobodde okutemya ku Poliisi y’e Kabunyata.

Wadde yabadde eziikiddwa mu ttaka yagiddwayo era yatwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Luweero okwekebejjebwa.

Okusinzira ku muddumizi wa Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero, Living Twazagye, okunoonyereza okuzuula oba baludde nga bagyeyambisa mu kumenya amateeka, kutandikiddewo.

Twazagye agamba nti mu Luweero mubaddemu okubiisa emmundu omuli okulumba Mobile Money, amassundiro g’amafuta, okusuula emisanvu mu kubbo wabula okwekeneenya emmundu kutandikiddewo.

Ate abatuuze bawanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye okunoonya abantu abakyamu abaludde nga beyambisa emmundu kuba singa tebazuulwa, bayinza okudda n’emmundu endala, okweyongera okubatigomya nga benyigira mu kubba n’okutta abatuuze.