Buli muntu alina engeri gy’ategeera omukwano era abantu bakola ebintu eby’enjawulo okulaga nti bategeera ekintu kye bayita akaboozi.

Newankubadde omukwano muzibu okutegeera, olunnaku olwaleero tukuleetedde ebintu by’olina okwewala mu kiseera nga wetegekera okusinda omukwano.

Olw’obutamanya, abantu balya ebintu eby’enjawulo, ekivaako ensonga z’omukwano obutatambula bulungi n’okusingira ddala ku ludda lw’abasajja.

Okunoonyereza kulaga nti endya embi, eyinza okulemesa omusajja yenna oba omukyala, okunyumirwa akaboozi.

1- Olina okwewala okunywa omwenge!

Okunywa ebintu byonna ebirimu omwenge, kiyinza okusembeza obudde bwa muudu ng’ate tonnaba kweteekateeka. Ekyo, kiyinza okuvaako amaddu ga kaboozi era kiyinza okuvaako okulemwa okuwa munno omukwano ogumala. Abasajja abamu bayinza okulemwa okutwala abakyala ku ntikko ate abamu bayinza okulwawo okuddamu okusituka, ekintu ekitabula buli mukyala naddala wakati mu kikolwa.

2 – Okwewala okulya ebintu by’omunnyo.

Entambula y’omusaayi, kikulu nnyo eri omusajja yenna okuyimuka obulungi. Singa olya ebintu ebirimu omunnyo, kyongera ku Puleesa, ekiyinza okulemesa okuyimuka obulungi.

3 – Emwanyi!

Emwanyi ziyinza okuyamba okwewala okwebaka amangu n’okufuna amaanyi wabula si kirungi okulya emwanyi mu kweteekateeka okusinda omukwano. Okulya emwanyi kitaataganya obwongo era kiyinza okulemesa omusajja yenna okuyimuka obulungi ate omukyala okulwawo okufuna obwagazi.

4 – Okulya ebintu bya butto asukkiridde.

Okulya ebintu nga birimu butto asukkiridde nga Chipusi sikirungi ku basajja n’abakyala. Buto ayinza okulemesa omusajja okufuna obwagazi mu budde n’okufuna obuzibu bw’okuyimuka obulungi ate abakyala kiyinza okulemesa omukyala yenna okusumula taapu z’amazzi obulungi. Butto asukkiridde ayinza okulemesa omusaayi okutambula obulungi kuba zireeta amasavu mu misuwa.

5 – Olina okwewala eby’okunywa bya Carbonates nga Ssooda.

Eby’okunywa nga ssooda, bikendeza ku bwagazi. Omukyala ayinza okwetamwa akaboozi nga mwakatandika oba omusajja nga kivudde ku by’okunywa. Ebimu biyinza okuleeta ggaasi mu lubuto ne bireeta obuzibu mu kiseera ky’okwegatta. Ggaasi ayinza okulemesa omukyala yenna okwegata obulungi nga buli kiseera ayisa omukka, ekiyinza okutabula omusajja.

6 – Okwewala okulya obutungulu!

Wadde obutungulu bulina ebirungi bingi, naye olina okubwewala mu kweteekateeka okusinda omukwano. Obutungulu buyinza okulemesa munno okunywegera obulungi ate abamu buyinza n’okuviirako obukyala okuvaamu akasu akabi wakati mu kwesa empiki.

7 – Ebijanjaalo!

Abamu ebijanjaalo biyinza okuviirako omusajja oba omukyala okulumwa olubuto. Kale okwewala okutaataganyizibwa wakati mu kikolwa, oyinza okwewala okulya ebijanjaalo singa okubaako omuntu gw’olinda okusinda omukwano.

8 – Okwewala okulya ebintu nga Swiiti!.

Okulya ebintu nga swiiti, biyinza okusumulula omubiri nga buli ddakika olina okufuka.  Ekyo kiyinza okulemesa okusinda obulungi omukwano, kale oyinza okubyewala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q