Omuwala Sheilah Gashumba ayongedde okulaga nti alina okunoonya omukwano okutuusa ng’afunye omusajja omutuufu, okutwala omutima gwe owa yinki entuufu.
Sheilah nga munnamawulire, y’omu ku bawala abakola ebintu eby’enjawulo okunoonya obulamu obulungi.
Mu kiseera kino, ali mu laavu n’omuyimbi Derrick Ddungu amanyikiddwa nga Rickman Manrick era omukwano guli mu ggiya nnene.
Gye buvuddeko, Rickman bwe yali ku Galaxy FM mu Pulogulamu ya Evening Rush, yategeeza nti Sheilah yali amwegomba okuva mu buto era yali amwagala ku mutima buli kiseera ng’amulaba ku ttivi.
Mu kiseera kino, Sheilah kati ali ku mutima gwe.

Kigambibwa Rickman okuyimba ennyimba z’omukwano omuli Naki, Galiwa Gwe, Tunyumirwe, yali agezaako okulaga Sheilah nti ddala ategeera ensonga za laavu.
Okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula ku mukutu ogwa WhatsApp, Sheilah alaga nti okufuna Rickman yinki 9, yatuuka mu nsonga z’omukwano.
Sheilah okufuna Rickman, yali asuddewo Marcus Ali Lwanga Ssempija eyali amanyikiddwa nga God’s Plan.
Vidiyo!
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q