Poliisi mu Kampala ekutte Asikaali Okello Isaac myaka 28, omutuuze ku kyalo Gogonya, Kabalagala mu Divizoni y’e Makindye ku misango gy’okutunda eby’okulwanyisa.

Asikaali Okello Isaac, mukozi mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi ekya Saracen era akwatiddwa ku Poliisi y’e Ntinda.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Okello abadde atunda amasasi ne Magazini.

Onyango agamba nti Okello abadde atunda buli ssasi shs 2,000 ate Magazini za SMG ssente shs 100,000.

Mu kwekebejja amakaage e Gogonya, Poliisi yazudde ebintu eby’enjawulo omuli Magazini za Pisito, eza SMG n’ebitundu by’emmundu eby’enjawulo.

Onyango agamba nti Okello ali ku Poliisi y’e Ntinda ku misango gy’okutunda eby’okulwanyisa era Poliisi y’e Kira etandiise okunoonyereza.

Ate Poliisi y’e Kakumiro ekutte omusajja ku misango gy’okutta omuntu.

Andrew Nabimanya myaka 40 nga mutuuze ku kyalo Katikara North yakwatiddwa ku by’okutta ategerekeseeko erya Kakooza.

Kigambibwa Nabimanya yasse Kakooza ku ssaawa nga 8 ez’ekiro ekikeeseza olwaleero bwe yamutemye ku mutwe, enyenyi, obulago ne mikono gyombi.

Peter Atukunda, omu ku batuuze agamba nti yawulidde emiranga nga Kakooza ali maziga asaba obuyambi, webatuukidde okutaasa nga yenna agudde mu kitaba ky’omusaayi ali mu mbeera mbi.

Mu kumuddusa mu ddwaaliro ekkulu e Kakumiro, yafudde bakamutuusa.

Wabula Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo agamba nti ensonga lwaki Kakooza yattiddwa temanyikiddwa.

Poliisi esobodde okuzuula ejjambiya Nabimanya gye yasobodde okweyambisa okutematema Kakooza ate omusibe asindikiddwa ku kitebe kya Poliisi e Kakumiro ku misango gy’okutta omuntu.

Ate abamu ku batuuze abagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, bagamba nti Kakooza abadde eyongedde okusendasenda mukyala wa Nabimanya era kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki yattiddwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q