Omuyimbi wa Hitnature ayongedde okulaga nti ddala musajja alina talenti.
Mu kiseera kino alina oluyimba olukutte wansi ne waggulu olumanyiddwa nga ‘Simanyi Nakumanya’.
Oluyimba ‘Simanyi Nakumanya’ lwa mukwano nga lugendereddwamu okulaga omukyala omukwano n’okuwaana ebirungo by’omukyala.

Wadde aba Hitnature balina ennyimba ez’enjawulo omuli Ndiwajjo, Muliwa, Nkulinze, Twazikoze, Long Distance, Byenkola n’endala, oluyimba Simanyi Nakumanya lwanjawulo nnyo kuba lukuba buli bbaala mu Kampala n’eggwanga lyonna.
Aba Hitnature bagamba nti balina ennyimba ez’enjawulo eziri mu situdiyo era omwaka 2022, bagenda kuvuganya nnyo mu kisaawe ky’okuyimba.
Vidiyo!
Ebirala mu kisaawe ky’okuyimba – https://www.youtube.com/watch?v=Mn9WigR25aw