Omusajja avudde mu mbeera, omuwala gw’amugaanye okugikwatako ekiro kiramba.

Kigambibwa omusajja yakubidde muganzi we essimu ategerekeseeko erya Chimdire ng’ali mu myaka 23 okuva mu kibuga Abuja, okuggya okulya obulamu.

Ng’omukyala omulala yenna, ne Chimdire yavudde awaka okugenda mu kibuga Lagos okukyalira muganzi we mu Nigeria.

 Mu kibuga Lagos, omusajja yamututte mu bifo eby’enjawulo okulya obulamu.

Ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, omusajja yakutte Chimdire okumutwala mu Hotero okweyongera okulya obulamu n’okulya ku kibala kya Adam.

Nga batuuse mu Hotero, ebintu byatambudde bulungi ddala mu kusooka wabula nga batuuse mu kikolwa ky’okusinda omukwano, essanyu lyazadde amaziga.

Wadde mu kusooka Chimdire yabadde musanyufu nnyo nga talina kutya kwonna kuba yabadde ali n’omusajja ali ku mutima gwe, mu rawundi esooka ey’okusinda omukwano, ebintu byakyuse.

Chimdire agamba nti wadde omusajja abadde amwagala nnyo, naye waya esukkiridde obunnene n’obuwanvu.

Mu rawundi esooka, Chimdire yekyangidde ku musajja nti akooye kuba yabadde awulira obulumi era amangu ddala, yavudde ku kitanda okudda wansi ng’abikooye.

Adduse mu kisenge

Chimdire wadde yabadde mu ssanyu mu kusooka, wakati mu kulukusa amaziga, yasabye muganzi we okumusonyiwa kuba yabadde abikooye nga yenna awulira obulumi mu bitundu by’ekyama.

Wadde omusajja mu kusooka yabadde alowooza Chimdire ayinza okukyusa endowooza ye, omukyala yagaanye, ekyavuddeko okuwanyisiganya ebigambo mu kisenge kyabwe.

Chimdire yakubye enduulu okusaba obuyambi ng’alina okutya nti omusajja ayinza okumutusaako obulabe kuba yabadde aswakidde, ayagala akaboozi.

Abakozi ku loogi webatuukidde okutaasa, ng’omuwala Chimdire ali mu maziga ng’omusajja amutabukidde.

Chimdire yayambadde engoye okuva ku hotero ate omusajja olw’obusungu n’okuswala, yasigadde yekka mu kisenge.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=vhkSwit9QL0