Kyaddaki Poliisi mu Kampala ekutte omukyala abadde yegumbulidde okubba abasajja mu bbaala ne loogi n’okusingira ddala mu bitundu bye Kawempe.

Lydia Nakayizi Asiimwe amanyikiddwa nga Hope Kalungi akwatiddwa oluvanyuma lwa Poliisi okufuna okwemulugunya okuva mu basajja ab’enjawulo ku Poliisi y’e Kawempe, Mpererwe, Kazo Angola ne Poliisi endala mu bitundu bye Kawempe.

Okusinzira ku sitetimenti ez’enjawulo ku Poliisi, Nakayizi abadde asendasenda abasajja mu bbaala okulowoozesa abadigize nti bali mu laavu.

Wabula mu kunywa emyenge mu bbaala, abadde ateeka ebintu mu by’okunywa, okunafuya abasajja oluvanyuma nga yefuula abagenda mu loogi okusinda omukwano.

Omukyala akwatiddwa

Webatuuka mu loogi, Nakayizi abadde atwala ebintu by’abasajja byonna omuli amassimu, ATM, engatto ssaako n’okubambula engoye zonna.

Nakayizi okukwatibwa, kidiridde okubba omusajja okuva ku Queen’s bar e Mpererwe oluvanyuma lw’okulaga abantu nti muganzi we era yamutwala mu mmotoka okuva ku bbaala.

Okuva ku bbaala, yamutwala mu loogi ng’abantu balowooza bagenda kusinda mukwano n’omusajja wadde yali alaga nti atamidde nnyo kuba yali amuteeredde ebigambibwa okuba kalifoomu mu by’okunywa nga bakyali mu bbaala.

Omusajja okudda engulu ng’omukyala yamubyeko ebintu byonna omuli n’engoye ng’ali bwereere.

Okugenda mu bbanka (Centenary Bank ne Equity Bank Uganda), okutwala amawulire nti ATM zonna zaali zibiddwa, nga ssente obukadde 10 zigiddwako.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Poliisi yasobodde okweyambisa kkamera okuzuula omukyala Nakayizi.

Fred Enanga

Enanga agamba nti essaawa yonna Nakayizi bagenda kumutwala mu kkooti, oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Okunoonyereza kulaga nti abadde anoonya abasajja bokka abalabika okuba ne ssente okubba ebintu eby’enjawulo.

Ebisanyusa ebiri mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=vhkSwit9QL0&t=79s