Omukazi ali mu myaka 40 aswadde mu maaso g’abatuuze, bamukutte n’omuyizi wa Yunivasite mu kazigo nga bali mu kusinda mukwano.
Omuyizi ali mu myaka 23 ng’asoma bya bizinensi kw’emu ku Yunivasite eziri mu Kampala.
Agamba nti yava Nakasongola okuggya mu Kampala okusoma kyokka mukyala wa Landiloodi we, aludde nga amwegwanyiza.
Omuyizi ategerekeseeko erya Mike agamba nti mu kusooka, omukyala yamusuubiza ebintu eby’enjawulo omuli n’okumusonyiwa ssente z’okupangisa singa akkiriza okumwagala.
Mike agamba nti mu kusooka yali abigaanye naye olw’embeera y’ebyenfuna, y’emu ku nsonga lwaki yakomekerezza ng’ali mu laavu ne mukyala wa Landiloodi.
Landiloodi Juma ayogedde!
Juma ng’ali mu myaka 55 agamba nti alina abakyala basatu (3) kyokka mukyala muto ow’e Ndeeba abadde afuna amawulire nti alina kati abalenzi abato.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, Juma yatuuse awaka nga mukyala we taliwo, omukozi w’awaka kwe kumutegeeza nti agenze wa Mike omu ku bapangisa.
Juma okutuuka ku muzigo gwa Mike nga bali munda bali mu kaboozi era wadde musajja alina abakyala 3, yakubye enduulu, okuyita abatuuze.
Abatuuze okutuuka nga Mike n’omukyala basobeddwa kuba omukyala yabadde yesibye leesu yokka ate Mike yabadde mu kapale k’omunda nga bonna batuuyanye olw’essanyu lwa kaboozi.
Ng’omusajja omulala yenna, Juma yagobye omukyala mu makaage ne Mike yagobeddwa ku nju.
Abatuuze boogedde!
Abatuuze bagamba nti wadde kikyamu omukyala okudda mu bwenzi n’omuyizi wa Yunivasite, abamu bagamba nti abasajja bangi basukkiridde okusuulirira obuvunanyizibwa bw’amaka.
Abamu bagamba nti Juma alina abakyala basatu (3) ate musajja musuubuzi akoowa nnyo nga kiyinza okuba ekizibu okuwa abakyala akadde mu nsonga z’omu kisenge, ekivaako abakyala okuwankawanka n’okudda mu bwenzi.
Ebimu ku biri mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=6WMr-w3TvYE