Ekiyongobero kibuutikidde abayizi ku ssomero lya Bukoyo Secondary School mu disitulikiti y’e Iganga, omuyizi abadde mu S6 bwe yesse akawungeezi ka leero ku Lwokusatu.

Denis Tukei, asangiddwa bayizi banne nga yetugidde mu kisulo, nga bakomyewo okulya eky’emisana okwetekateeka okudda mu kibiina.

Omuyizi Tukei asobodde okweyambisa akatimba k’ensiri, okusiba waggulu ku mulabba, oluvanyuma asobodde okulinya ku ntebe, kwavudde okwetuga.

Okusinzira kw’amyuka omukulu w’essomero Musa Ibrahim, Tukei abadde abanjibwa ‘School fees’, ssente 1,200,000, ng’abadde asindikiddwa okudda awaka, okukima balansi.

Embeera ku ssomero

Wabula kigambibwa, muganda we ssente abadde yazimuwa dda nga yazirya nga y’emu ku nsonga lwaki abadde asabye essomero, ensonga ya ssente ezibanjibwa, obutayingizaamu famire ye.

Musa agamba nti Tukei okulya ssente ate ng’atya okuddayo awaka, y’emu ku nsonga lwaki alabiriza bayizi banne nga bagenze okulya eky’emisana, okwetta.

Eddoboozl lya Musa

Tukei okwetta, asangiddwa ng’ayambadde vesiti enjeru ssaako n’empale ennyimpi nga nzirugavu ne sitookisi era abayizi balemeddwa okusoma akawungeezi ka leero, olw’entiisa ebadde ku ssomero.

Okusinzira ku bayizi banne, omugenzi y’omu ku bayizi abaludde nga bakola bulungi mu kibiina era abadde asuubira okuyita obulungi ddala mu bigezo bya S6, okusobola okugenda ku Yunivasite omwaka ogujja ogwa 2023.

Bangi basigadde mu maziga kuba omugenzi Tukei abadde mukwano gwa bayizi bangi ddala.

Ate omwogezi wa Poliisi Busoga East, Diana Nandawula agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekivuddeko omwana okwetta nga n’omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Iganga, okwekebejjebwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=f_VPQzj_lto&t=57s