Omuwala amanyikiddwa nga Asiimwe1900 nga ku mukutu ogwa Twitter yeeyita Love, avuddemu omwasi oluvanyuma lwa vidiyo ze okweyongera okutambula ng’ali bukunya.
Mu vidiyo eziri mu kutambula, Love yakoze ebintu eby’enjawulo okulaga nti ddala ategeera kye bayita omukwano.

Yabadde mu laavu


Ng’omuwala omulala yenna omuto, mu vidiyo alaga nti ali mu laavu era yasobodde okukola ebintu eby’enjawulo, okulaga nti ddala kafulu mu nsonga z’omu kisenge.
N’okutuusa kati, tekimanyiddwa ani yakulembeddemu okufulumya vidiyo, eziri mu kutambula mu kiseera kino n’okusingira ddala ku mukutu ogwa Twitter.
Wabula Love asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okuvaayo ku vidiyo ze.
Mu kusooka, yebazizza abantu bonna abasobodde okuwaayo ku ludda lwe mu kiseera kino ng’ebintu bimusobedde olwa vidiyo okweyongera okutambula.
Love mu ngeri y’emu agambye nti mu bulamu bwe, tagenda kuddamu kwesiga basajja, “Thanks everyone for comfort words, lets forget the past in that video! But I will never trust men Again”.

Bambi asobeddwa


Ebigambo bye, biraga nti omusajja muganzi we oba abadde muganzi we, ayinza okuba yafulumizza vidiyo olw’obutakaanya wakati waabwe.
Mu kusooka, yasobodde okweyambisa era omukutu ogwa Twitter, okusaba abantu abalabye ku vidiyo, okuyamba obutagitambuza, “If you have received my video kindly delete it plz. Just assume I was your sister”.

Akooye kye bayita abasajja

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5kpCY2-uBpI