Eyali yeegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino Paul Kawanga Ssemogerere afudde takutte ku ntebe wadde okulaba ku nkyukakyuka gye yali yegwanyiza.

Ssemogerere nga yaliko Pulezidenti w’ekibiina ki Democratic Party (DP) afiiridde ku myaka 90 mu makaage e Rubaga.

Mu bulamu bwe, abaddeko Minisita mu Gavumenti ez’enjawulo omuli Tito Okello Lutwa ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga, Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga, Minisita w’ensonga z’abakozi n’obukulembeze obulala.

Amaze emirimu gye

Avuganyiza ku bukulembeze bw’eggwanga lino emirundi 2, omuli 1980 akaalimu okusika omuguwa, munna Uganda People’s Congress (UPC), kati omugenzi Milton Obote keyawangula.

Mu Gwomukaaga, 1995, yalekulira mu Gavumenti ya Museveni, neyesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu 1996, okulonda Museveni kwe yawangula.

Mu 2005 yawumula eby’obufuzi, John Ssebaana Kizito kati omugenzi kwe kudda mu bigere bye.

Abadde musajja muyivu nga yasomera massomero ag’enjawulo St. John’s Boys Boarding Primary School, St. Henry’s College Kitovu, Kisubi Boys ng’ali mu Pulayimale.
Amalala kuliko St.Mary’s College KisubiJunior Secondary One, Senior Secondary One, St. Mary’s College Kisubi, Makerere College.
Ate mu Yunivasite kuliko University College of East Africa, Syracuse University mu America n’endala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=mtvwLABzd_A