Omuvubuka myaka 25 asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 20 ku misango gy’okusobya ku mukyala omulalu ate nga tawulira bulungi.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Samuel Kamau, yasaanga omukyala ng’ali yekka awaka ku kyalo Murang’a mu ggoombolola y’e Murang’a  mu ggwanga Kenya, okumusobyako.

Yamukwata, namutwala mu nsiko okumpi n’ekkubo era wakati ng’amusobyako, omukyala wadde yali mulalu, yavaamu amaloboozi, agewunyisa abatuuze mu ngeri y’okunyumirwa ebigenda mu maaso.

Abatuuze nga bakulembeddwamu muganda w’omukyala omulenzi, bayingira ekibira okulaba abantu abali mu kusinda omukwano, amaaso gatuukira ku muganda we, nga Kamau amusobyako.

Kamau nga yali tayambadde kondomu yakwatibwa, kyokka bakulungula kumpi eddakika 10, okumatiza omukyala omulalu okudda awaka n’okumulaga nti, abadde mu kikolwa kimenya amateeka mu nsiko.

Mu kkooti, Kamau asabye omulamuzi ekisonyiwo era asibiddwa emyaka 20, ng’akabonero okulabula abasajja abalala okukomya okweyambisa omukisa gw’abakyala nga balina obuzibu ku mutwe, okuddamu okubasobyako.

Ebirala ebifa mu nsi – https://www.youtube.com/watch?v=7RVZ4c_MMQI