Omuliro gusse abantu…

Poliisi y’e Kabalagala etandiise okunoonyereza ku muliro, ogulese abantu 5 nga z’embuyaga ezikunta mu zzooni ya Yoka e Bukasa mu Divizoni y’e Makindye mu Kampala.
Ennyumba ekutte omuliro ku ssaawa nga 8 ez’ekiro.
Abafudde kuliko ssemaka Luyomba Steven 50 ng’abadde mutendesi wa bikonde, mukyala we Nafula Doreen myaka 35 n’abaana basatu (3) okuli Lubega Sumei myaka 16, Naiga Edith 15 n’omulenzi omuto Andrew myaka 7.
Wabula Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonyereza kulaga nti omuliro gwatandikidde mu nnyumba ya neyiba Ogola Charles nga yalese omusubbaawa nga gwaka mu nnyumba.
Ogola amanyikiddwa nga kawenja, omu ku batambula mu Kampala obudde bw’ekiro okulonda obucupa.
Owoyesigyire agamba nti Poliisi y’e Kabalagala eyingidde mu nsonga ezo okunoonyereza nga n’emirambo gisindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.
Kigambibwa, Poliisi weyatuukidde okutaasa nga famire yonna eweddewo.
Newankubadde Poliisi etandiise okunoonyereza, eyali ssentebe w’ekyalo Yoka, Fred Mwesige, nga y’omu ku batuuse mu kifo nga basuubira okutaasa obulamu, agamba nti Luyomba ne famire ye, kiteeberezebwa waliwo eyabakumyeko omuliro.
Mwesige awanjagidde Poliisi okunoonyereza, okuzuula amaziga.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RDgTxRJsA6g