Omuvubuka ali mu myaka 30 awunze, bw’akutte muganzi we ng’ali mu kikolwa n’omusajja omulala.

Omuvubuka ategerekeseeko erya Sam agamba nti muganzi we Stella yakedde kumusaba ssente okugenda mu saluuni okusiba enviri.

Agamba yakedde mu bbanka okufuna ssente era yawadde Stella shs 100,000 okusiba enviri.

Sam wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti ku ssaawa 12 ez’akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Stella yamukubidde nti mukwano gwe mulwadde nnyo era gy’agenda okusula, okumuyambako kuba tali mu mbeera nnungi.

Sam agamba nti yabadde talina buzibu bwonna Stella okugenda okuyamba mukwano gwe wabula ku ssaawa 2 ez’ekiro, yafunye essimu okuva eri mukwano gwe, avuga bodaboda nti Stella ali n’omusajja omulala mu bbaala mu bitundu bye Ggaba.

Ng’omusajja omulala yenna, Sam yafunye bodaboda okugenda okulaba oba ddala Stella ali bbaala n’omusajja omulala kuba yabadde takwata ssimu.

Okutuuka ku bbaala, nga Stella agenze mu loogi n’omusajja.

Loogi eri ku luguudo oludda ku KK Beach e Ggaba era okusinzira ku Manejja agaanye okwatuukiriza amannya ge, ekiro kimu, Kasitoma alina okuwa shs 40,000 ate VVIP shs 100,000.

Sam okutuuka ku loogi nga Stella ali mu kaboozi n’omusajja, ali mu ssanyu lya ku nsi.

Ng’omusajja omugezi, Sam yasobodde okutegeeza Manejja nti Stella muganda we kyokka abadde amunoonya kuba bafiiriddwa muganda waabwe.

Manejja yasobodde okugenda ku mulyango okuyita Stella wabula okutuuka ng’omuwala ali wakati mu kikolwa, ‘oh yaaa guno nga muwanvu nnyo daddy’.

Yasabye Sam okulinda nga kiyinza okuba ekizibu, mu kiseera ekyo.

Sam yavudde mu mbeera era yakubye oluggi okuyingira munda era wadde Stella yabadde ali mu kusinda mukwano, byakomye awo.

Wadde Sam yabadde alina amaanyi okulumba omusajja omusiguze, okuyingira munda nga Stella yenna ali bwereere yawunze era yagudde wansi ng’aweddemu amaanyi.

Agamba nti Stella abadde amwagala nnyo nga tasuubira nti ayinza okwenda.

Omusiguze yadduse oluvanyuma lwa Sam okusamba oluggi ate Stella yatabukidde Sam okumulondoola.

Stella yalangidde Sam obunafu mu nsonga z’omu kisenge nga y’emu ku nsonga lwaki yafunye omulenzi ategeera ensonga z’omu kisenge.

Manejja wa Loogi yasobodde okuyamba Sam okufuna amaanyi okudda awaka ate Stella oluvanyuma lw’okuvuma Sam, yafunye bodaboda okuva mu kifo.

Omusiguze naye yalinye bodaboda okudduka kuba kigambibwa naye yabadde musajja mufumbo.

Kigambibwa Sam mutuuze w’e Nsambya mu Kampala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=SMB1qLf7iCk