Abatuuze bagamba nti abaana okukaaba ennyo, y’emu ku nsonga lwaki omutujju wa Allided Democratic Forces-ADF e Masaka yazuuliddwa.
Ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye akawungeezi ka Sande byazudde omutujju wa ADF n’ebyokulwanyisa eby’enjawulo.

Mbu batujju ba ADF


Mu byazuuliddwa kuliko emmundu, ebintu eby’enjawulo ebikozesebwa okukola bbomu n’ebintu ebirala.
Omutujju abadde yapangisa ennyumba ku kyalo Kyalugo mu muluka gwe Bugabira e Nyendo Mukungwe mu kibuga kye Masaka.

Enju ya batujju


Okusinzira ku Poliisi, omutujju Ali Katende amanyikiddwa nga Mao abadde yapangisa ennyumba okugyeyambisa okukola obutujju nga bwe kyakolebwa ku Poliisi y’e Kyabadaaza omwezi oguwedde ogwa November, 2022.

Ebimu ku byazuuliddwa


Ssentebe w’ekyalo Kyalugo, Jane Nalubega, agamba nti abadde afuna lipoota okuva mu batuuze olw’abaana abakaaba buli kiro mu nnyumba y’abatujju.
Nalubega agamba nti ennyumba ebadde yakapangisibwa emyezi 4 nga mulimu omusajja, omukyala n’abaana babiri okuli myaka 3 ne 5 nga balaga nti bali mu mbeera mbi ate ku kyalo nga tebalina musango gwonna.

Ebimu ku bizibiti


Patrick Musenzi nga neyiba agamba nti omusajja yali yamutegezaako nti yava mu disitulikiti y’e Mubende okudda e Masaka okwenyigira mu kukwata ensenene.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti okunoonyereza okuzuula akabinja konna kuli mu ggiya nnene.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jHZ5PtmDRj0