Abantu 15 bafiiridde mu kabenje e Kamdini ku luguudo lwe Kampala-Gulu mu disitulikiti y’e Oyam mu kiro ekikeeseza olwaleero.
Bbaasi namba UAT 259P okuva mu Kampuni ya Roblyn Bus Company ebadde evudde mu Kampala okudda mu disitulikiti y’e Gulu, kwekuyingirira Tuleera.
Tuleera ebadde etikka muwogo mu katawuni k’e Adebe.

Okusinziira ku Stephen Apunyo omu ku beerabiddeko n’agaabwe, bbaasi ebadde edduka nnyo.
Patrick Jimmy Okema, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye North Kyoga, agamba nti abantu 11 bafiiriddewo ate 4 bafiiridde mu ddwaaliro.

Okema agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekivuddeko akabenje.
Bangi bafunye ebisago era batwaliddwa mu ddwaaliro lya Pope John the XXIII Hospital Aber mu disitulikiti y’e Oyam ne St. Mary’s Hospital Lacor e Gulu, okufuna obujanjabi.
Uganda efunye obubenje obw’enjawulo mu myezi 2 okuli Desemba 2022 kati ne Janwali, 2023 era ebiriwo biraga nti abantu abasukka mu 150 bebaakafa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=q1FzgMfOegk&t=12s