Poliisi etandiise okunoonyereza kabenje akasse abantu bataano (5) mu Monicipaali y’e Njeru ku luguudo lwa Kampala – Jinja.

Akabenje kabaddemu Takisi okuva mu bitundu bye Mbale namba UBL 838U ne Fuso namba UBB 895H eyabadde etwala Cementi okuva mu disitulikiti y’e Kayunga okudda e Jinja.

Kigambibwa ddereeva wa Fuso emmotoka yamulemeredde, kwekuyingirira Takisi, mita 500 okuva ku Nile bridge.

Abantu babiri (2) mu takisi bafiiriddewo mu kabenje ate basatu (3) baafudde nga bakatuusibwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja kyokka abantu musanvu (7) bakyali mu ddwaaliro oluvanyuma lw’okufuna ebisago.

Akabenje kasse abantu

Takisi yabaddemu abantu 15, nga 14 basaabaze abagiddwa mu Kampala okutwalibwa e Mbale.

Robert Musisi, omu ku batuuze abeerabiddeko n’agaabwe ku kabenje agamba nti obutabaawo okulambika abantu mu byentambula, y’emu ku nsonga eyavuddeko akabenje.

Ate Patrick Isiko ng’avuga bodaboda mu bitundu bye Kayunga, asabye Poliisi y’oku nguudo, okuvaayo okutaasa eggwanga naye emmotoka zeyongedde ku luguudo lwe Jinja – Kampala, ekivuddeko obubenje okweyongera.

Hellen Butoto, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Sezibwa, agambye nti ddereeva wa Fuso aliira ku nsiko mu kiseera kino.

Agamba nti okunoonyereza kulaga nti akabenje kavudde ku kuvugisa kimama.

Butoto agamba nti mu kiseera kino Poliisi etandiise okunoonya famire z’abagenzi ssaako n’abo, abali mu ddwaaliro.

Mu ggwanga Uganda, obubenje bweyongera nnyo mu biseera bino eby’ennaku enkulu n’okusingira ddala ku luguudo lwe Kampala – Masaka.

Faridah Nampiima, omwogezi wa Poliisi y’ebidduka mu ggwanga, agamba nti abasirikale beyongedde obungi ku nguudo okulambika eby’entambula, okuyambako mu kutangira obubenje mu ggwanga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=dWELGvYfrXI