Okutya kukyali kwamaanyi ku kyalo Kisule Butanza mu disitulikiti y’e Luweero, olw’abatemu okutta omwana, omutwe ne bagutwala, obugalo ssaako n’obugere.

Omwana Yasin Sserunga myaka 8 yattiddwa nga yazuuliddwa nga yatemeddwako omutwe ku Ssande ku makya.

Omwana ono, yaziikiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, ku kyalo Kasanga mu Tawuni Kanso y’e Katuugo mu disitulikiti y’e Nakasongola, wakati mu batuuze okuyunguka amaziga.

Wabula aba famire ssaako n’abatuuze mukuwayamu naffe, bawanjagidde ekitongole ekya Poliisi, okuyamba okunoonya abatemu, okutuusa nga bonna bazuuliddwa.

Muganda w’omwana eyattiddwa, agamba nti Sserunga yatwalibwa ku Lwomukaaga ku ssaawa nga 7 ez’emisana ne banoonya wonna wabula baalemwa okumuzuula.

Muganda w’omugenzi

Ate maama w’omwana Allen Nabatanzi, wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti okuziika mwana we nga wakitundu, kyongedde okusanyalaza omutima gwe.

Maama mu maziga

Natabanzi, awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe, okuyamba okunoonya abatemu, nga yetaaga amazima n’obwenkanya.

Maama Nabatanzi

Ate taata w’omwana Yasin Sserunga, agamba nti engeri omwana we gyeyatiddwamu, tewali kubusabuusa kwonna, omwana we yasaddakiddwa.

Taata asabye Poliisi okuyamba okutuusa nga bazudde omutwe gw’omwana we n’okutegeera ekituufu lwaki omwana we yattiddwa mu ngeri y’obukambwe.

Wakati ng’abatuuze bali mu kutya, ssentebe wa LC 3 mu tawuni Kanso y’e Katuugo Fred Lubinga, agamba nti amasabo okweyongera mu kitundu kyabwe, kyongedde okuvaako ebikolwa eby’okusaddaka okweyongera.

Lubinga agamba nti mu kiseera kino, kizibu okutegeera omusawo w’ekinnansi omufere n’omutuufu, nga kyewunyisa okuziika omuntu, nga yatemeddwako omutwe.

Ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah Patrick Lule, agamba nti wakati mu kunoonyereza waliwo ebizuuliddwa ebiyinza okubayambako, okuzuula abatemu.

Lule agumizza abatuuze ne famire, ku nsonga y’okunoonya abatemu n’okuzuula ebitundu okuli omutwe ebyatwaliddwa.

Patrick Lule

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=q1FzgMfOegk&t=348s