Ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye, biri mu kunoonya bamukwatammundu ku misango gy’okutta abantu munaana (8).
Abantu 8 battiddwa nga bali ku patte y’amazaalibwa mu katawuni k’e Kwazakhele mu ggwanga lya South Africa, akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande.
Bamukwatammundu batuuse nga bali babiri (2) kwe kutta abantu abasangiddwa nga bali mu patte, bali mu ssanyu mu nnyumba.
Amazaalibwa gaabadde ga Vusumzi Sishub, eyabadde ajjaguza okuweza emyaka 51 era naye yattiddwa.
Poliisi ewanjagidde abatuuze okuyambagana okuleeta amawulire, okuyambako mu kunoonya abatemu.
Alipoota ya Poliisi eraga nti abattiddwa kuliko abasajja bataano (5) n’abakyala basatu (3) nga bonna bali wakati w’emyaka 20-64.

Battiddwa ku Ssande


Omukulu wa Poliisi mu kitundu ekyo ekya Eastern Cape Nomthetheleli Lillian Mene asuubiza abatuuze okunoonyereza okutuusa nga bazudde ensonga lwaki ettemu lyakoleddwa.
Ate Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Poliisi, olunnaku olw’eggulo ku Mmande yatuseeko mu kifo awakoleddwa ettemu era yasuubiza nti bamukwatammundu baakukwatibwa baggalirwe.
Mu South Africa, emisango gy’emmundu gyeyongedde ng’omwaka oguwedde ogwa 2022, abantu 21 battibwa mu bbaala nga bakubiddwa amasasi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ete2wobWqLg