Maama ali mu maziga…

Maama w’omugenzi Mowzey Radio, awanjagidde abakulu mu gavumenti okuli Minisita avunaanyizibwa ku ttaka Judith Nabakooba, okuvaayo okumuyaamba ku babbi, abalemeddeko okutwala ettaka lye.

Kasuube Jane nga mutuuze we Kagga – Ntebe mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti waliwo omugagga eyavuddeyo okutwala ettaka okutudde ennyumba, mutabani we Radio gye yamuziimbira ate nga weyaziikibwa.

Kasuube wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti omusajja, ayagala okutwala ettaka lye, akoze ebintu eby’enjawulo omuli okumutisatiisa, okusobola okumusengula n’okusengula ekiggya gya Radio.

Agamba nti wadde balina endagaano, Radio yagenda okufa nga tannaba kufuna kyapa, era kati landiloodi, nannyini ttaka alemeddeko okutwala ekibanja kye.

Okubyogera, abadde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Mowzey e Kagga n’okujjukira nga bwe giweze emyaka 5 bukya Radio afa nga 1, Febwali, 2018, maama Kasuube kwe kusaba okuyambibwa okusinga okutwala ekibanja.

Mungeri y’emu Maama, akangudde ku ddoboozi olw’abakyala abeyongedde okuvaayo okuleeta abaana, mbu baana ba mugenzi Radio.

Abamu kw’abo mwe muli omwana myaka 28 omuwala nti yali mwana wa Radio ate maama Kasuube agamba yawulidde n’omukyala agamba nti alina omwana wa Radio myaka 2.

Agamba nti waliwo ebintu ebiswaza naye ekiddako kwe kutwala abaana ku musaayi, okusalawo abaana b’omugenzi Radio abatuufu.

Okusaba, kukulembeddwamu Father Francis Kituuma era kwetabiddwako abantu ab’enjawulo n’okusingira ddala abatuuze.

Father Kituuma naye awanjagidde Minisita Nabakooba okuvaayo okutaasa maama ku nsonga z’ettaka.

Father Kituuma agamba nti kiswaza okudda mu nsonga z’ettaka ez’omuyimbi Radio, eyakola ebintu eby’enjawulo olwa talenti.

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=EEFhBRpwGZg&t=19s