Poliisi eyingidde mu nsonga okunoonyereza ku kyavuddeko omuyizi wa Yunivasite e Makerere okufiira mu kidiba ky’amazzi ekiwugirwaamu ‘Swimming Pool’ akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga nga 4, Febwali, 2023.
Emmanuel Wamono ng’abadde asoma ‘Electrical Engineering’ kigambibwa yafudde bwe yabadde agezaako okutaasa omwana eyabadde agudde mu Swimming Pool.
Aba famire, bagamba nti Wamono abadde mu mwaka gwe ogusembayo ku Yunivasite e Makerere era yabadde azzeeyo mu disitulikiti y’e Mbale okuwumula.
Bwe yabadde agenze ne mikwano gye ku Mountain Inn Hotel mu kibuga Mbale, okulya obulamu, yagudde mu ‘Swimming Pool’ okutaasa obulamu bw’omwana kyokka ekyembi, yafiiriddemu.
Waliwo ebigambibwa nti Wamono mu kusooka yabadde ne mikwano gye nga bawuga, oluvanyuma yasigadde ku ‘Swimming Pool’ ng’atudde, banne kwe kugenda mu bbaala ya Mountain Inn Hotel okweyongera okulya obulamu.
Bwe yabadde atudde, kwe kulaba omwana ali mu mazzi ng’alajjana, kwe kudduka okutaasa kyokka ekyembi, kigambibwa yabadde akooye nnyo, kwe kulemererwa okuwuga.
Wadde yabadde akooye, yasobodde okutaasa obulamu bw’omwana kyokka olw’obukoowu yalemereddwa okuwuga, okutaasa obulamu bwe.
Amyuka Chansala ku Yunivasite y’e Makerere Polof Barnabas Nawangwe ng’ayita ku mikutu migatta bantu omuli Twitter, asobodde okusaasira famire y’omugenzi ssaako ne bayizi banne.

Rogers Taitika, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Taitika agamba nti ebiriwo biraga nti mulimu ensonga y’obulagajjavu ku Mountain Inn Hotel era byonna Poliisi egenda kunoonyereza okuzuula ekituufu.
Wakati mu kunoonyereza, Wamono yaziikiddwa olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga 6, Febwali, 2023 ku kyalo Bunambutye mu disitulikiti y’e Mbale.
Ebipya mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-LY2_5nYLmA
Bya Nakimuli Milly