Kalifoomu……….
Poliisi Entebe ekyanoonyereza ku muyizi omusajja asoma obwa nnaansi agambibwa okuba ng’abadde asobya ku bakyala abalwadde abazze okufuna obujjanjabi mu ddwaaliro lya Gavumenti Entebe erya Ntebe Grade B.
Nnaansi Kuteesa Denis yakwatiddwa ku wikendi era Poliisi egamba nti erina okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Kigambibwa Kuteesa abadde abalwadde abakyala abajja mu waadi ennene n’abatwala mu ofiisi mwakolera, wabakubira kalifoomu olwo n’abakaka omukwano.
Abalwadde be bakyala abalina endwadde mu bitundu by’ekyama.

Poliisi mu kwekebejja akazigo ke, musangiddwamu Kalifoomu agambibwa nti gw’abadde asinga okweyambisa okusobya ku balwadde era yatwaliddwa abakugu okumwekebejja.
Ku Mmande, Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, yagambye nti ebiriwo biraga nti abakyala bangi bandibanga baasobezebwako Nnaasi Kuteesa, kwe kusaba buli mukyala eyali asobezeddwaako okuvaayo, okuyamba Poliisi okufuna obujjulizi.
Owoyesigyire era agamba nti mu kazigo ka Kuteesa mwasangiddwamu ebbaluwa gye yali awandikidde Pasita mu Kampala (amannya gasirikiddwa) ng’asaba Pasita okumusabirako okwesonyiwa ebikolwa ebikyamu eby’okusobya ku bakyala.
Omukyala ayogedde!
Omu ku bakyala (amannya gasirikiddwa) agamba nti Nnaasi Kuteesa yamusobyako oluvanyuma lw’okumulimba.
Omukyala agamba nti yali mu waadi ennene, nnaansi kwe kumuyita okumukolako era yamutwala mu kasenge mwakolera.
Wabula agamba nti nnaansi yamukuba ebintu ebiteeberezebwa okubeera kalifoomu.
Omukyala agamba nti okudda engulu nga yenna mukoowu, nnaansi yali amaze okumukozesa era kwekutegeera nti ate yali anoonyezebwa mu waadi ennene okufuna obujjanjabi.
Agamba nti, nnaansi yamukima mu waadi ennene ku ssaawa nga 10 ez’ekiro era abasawo mu waadi ennene, baali balowooza nti adduse mu ddwaaliro.
Okumutwala mu ofiisi mwakolera, omukyala agamba nti yali alowooza nnaansi y’omu ku basawo abakugu, abalina okujjanjaba abalwadde ku lunnaku olwo.