Taata Cheyi Ben Angol  myaka 37 akwatiddwa Poliisi y’e Apem mu ggoombolola y’e Omel mu disitulikiti y’e Gulu oluvanyuma lw’okutwalira amateeka mu ngalo okutta omuntu ng’ali ne mikwano gye (5) olw’okusinda omukwano.

Omuvubuka Okema Daniel  myaka 16 yattiddwa mu bukambwe kubigambibwa nti yasangiddwa ng’ali mu kaboozi ne muwala wa Ogol atanetuuka.

Kigambibwa Ogol amaze ebbanga ng’afuna amawulire nti Okema asobya ku muwala we era mu kiro omuwala yavudde mu nnyumba, okugenda eri omulenzi okudda mu kusinda omukwano ku myaka emito.

Taata yasobodde okufuna mikwano gye 5 okuli Rubangakone, Mugisha, Odongo Daniel, Komakech Daniel ne Nasur Bwambale  ne balumba Okema ne bamukuba okutuusa lwe yafudde oluvanyuma ne bamuwanika ku muguwa okulaga nti yeetuze.

Omuvubuka Okema yasangidwa ng’ali mu mukwano n’omuwala era amangu ddala Taata yalagidde muwala we okudda awaka, kwe kutta Okema ne banne.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti taata Cheyi Ben Angol atwaliddwa ku Poliisi ku misango gy’okutta omuntu.

Fred Enanga

Enanga era agamba nti Poliisi eri mu kunoonya abasajja bonna abataano (5) abenyigidde mu kutta omuntu, abaliira ku nsiko mu kiseera kino.

Wakati mu kunoonyereza, Poliisi evumiridde eky’abantu okutwalira amateeka mu ngalo.

Eddoboozi lya Enanga

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Ilk5FY0Enek