Omusajja Mwesigwa Eric ayongedde okulaga ebisoko mu kuzannya kaadi wakati wa Gavumenti n’ekibiina ki National Unity Platform (NUP).

Omwezi oguwedde ogwa Janwali, Mwesigwa yavaayo nagamba nti, yawambibwa, ebitongole byokwerinda nga 31, Janwali, 2023 ne bamutulugunya omuli n’okumwokya ppaasi.

Mwesigwa nga musajja avuga bodaboda mu Kampala, agamba nti yawambibwa abasajja abaali bayambadde obukookolo era ebbanga lye yamala ng’ali mu buwambe, yali abuuzibwa, ebikwata ku kibiina ki NUP.

Ng’ali mu bulumi

Oluvanyuma lw’okuvaayo, ekitongole ekikuuma ddembe eky’amaggye, kyavaayo n’ekigamba nti bbo ng’amaggye tebatulugunya bantu wadde okuwamba.

Omwogezi w’amaggye Brig. Flex Kulaiyigye, yategeeza nti abantu bangi, bagamba nti batulugunyizibwa naye nga balimba era ensonga za Mwesigwa, balina kuzikwata mpola nnyo.

Kati no Mwesigwa ayongedde okukyanga matatu, okunoonya eyinza okumuwa obuwanguzi kuba avuddeyo n’ebyama ebipya.

Ng’asinzira ku kitebe ky’amaggye e Mbuya, Mwesigwa, agamba nti abamuwamba n’okumutulugunya baava mu kibiina ki NUP nga yali asuubiziddwa ssente obukadde 50 oluvanyuma lw’omulimu ogw’okusiiga Gavumenti enziro.

Agamba nti yakkiriza okutwalibwa okutulugunyizibwa kyoka bukya avaayo omuli n’okweyanjula eri Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) tebannaba kumuwa ssente ze wadde 100.

Ddiiru y’okuwambibwa, Mwesigwa agamba nti yaleetebwa kanyama wa Bobi Wine era yali asuubira nti agenda kweyambisa ssente obukadde 50 okukyusa obulamu.

Eddoboozi lye

Okuvaayo, okulaga nti byonna byabulimba, kabonero akalaga nti wadde yaddukira mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu, ng’avunaana Gavumenti n’ebitongole byokwerinda, nabyo byali bya bulimba.

Wabula, tewali kubusabuusa kwonna yatulugunyizibwa n’afuna ebisago era ekibuuzo kiri nti, ani yakikola?

Bwabuziddwa, oba Gavumenti nayo yamutiisatiisa, abadde mugumu ddala ng’agamba nti sibwekiri wabula Gavumenti yavuddeyo okumuwa obujanjabi.

Mwesigwa e Mbuya azze ne munne gw’agamba nti muganda we Joseph Kaddu.

Kaddu agamba nti naye yabadde afunye ddiiru naye okuwambibwa bamutulugunye mu Gwokuna, 2023, era naye yabadde asuubiziddwa ssente obukadde.

Mungeri y’emu agamba nti NUP erina emmotoka ekika kya ‘Drone’, gye bali mu kweyambisa okuwamba abantu, okusiiga Gavumenti enziro.

Eddoboozi lya Kaddu

Ate omwogezi w’ekibiina ki NUP, Joel Ssenyonyi, agamba nti ebiriwo biraga nti Gavumenti etandiise okweddako ku by’okutulugunya abantu.

Ssenyonyi asabye ebitongole byokwerinda okuvaayo n’obujjulizi ku kwebyo, ebyogeddewa Mwesigwa Eric ne Kaddu kuba mu Kampala mulimu kkamera ku nguudo.

Ssenyonyi agamba nti Gavumenti erina obuyinza okunoonyereza okuzuula abantu abali mu kuwamba abantu era ye ssaawa okunoonya, okulaga eggwanga ani yatulugunya Mwesigwa.

Eddoboozi lya Ssenyonyi

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Nw5EjPl5zcY