Omuwala ali mu myaka 22 akiguddeko, asangiddwa ng’ali mu kaboozi n’omulenzi omulala.
Omuwala ategerekeseeko erya Shamirah ng’asoma byabulimi kw’emu ku Yunivasite mu Kampala, yaswadde mu maaso ga muganzi we Hakim.
Hakim ng’asoma bwa yinginiya, agamba nti Shamirah abadde muganzi we okuva omwaka oguwedde ogwa 2022 mu Janwali era abadde alina essuubi okutandika obufumbo oluvanyuma lw’okusoma.
Agamba nti okuva mu Desemba, Shamirah abadde eyongedde okukyuka mu nneyisa nga n’essimu takwata ennaku ezimu.
Ng’omusajja omulala yenna, ne Hakim yafuna mikwano gye, okulondoola Shamirah okuzuula oba ddala alina omusajja omulala.
Hakim agamba nti mu Janwali, yafuna alipoota nga Shamirah alabika alina omusajja omulala kuba buli kiro abadde amutwala okuva mu hositeero okulya obulamu.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Hakim yabadde ku Yunivasite kwe kulaba Shamirah ng’ali n’omusajja omulala bafuluma Yunivasite.
Hakim yalondodde Shamirah okutuuka ku kazigo okumpi ne Yunivasite omusajja.
Nga wayise eddakika nga 20, Hakim yagenze ku kazigo, kwe kuzuula nti Shamirah ali mu kaboozi okusinzira ku maloboozi agaabadde gava munda.
Obutaagala kweswaza, Hakim yasinzidde mu ddirisa okutegeeza Shamirah nti okuva leero, olina omusajja, nsaba onnesonyiwe.
Wadde Shamirah yabadde mu ssanyu, yavudde mu kazigo ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi nga yenna aswadde mu bantu era yafulumye ayambadde galubindi ez’omusana, okubuzabuza abantu.
Embeera yonna eraga nti wadde Shamirah yabadde mu laavu n’omusajja omulala, abadde akyayagala Hakim.
Hakim bw’abadde awayamu naffe, asobodde okutulaga obukakafu, obulaga nti ddala Shamirah abadde muganzi we nga ne famire abamu bakimanyi era abadde alina vidiyo nga bali mu kikolwa emirundi egy’enjawulo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=T17xPvv4l_I