Omubaka Ssegirinya Muhammad ow’e Kawempe North agamba nti omubiri gukyali munafu nnyo newankubadde yavudde mu kkomera.
Ssegirinya ali ku misango egiwerako omuli okwenyigira mu kutta abantu mu kitta abantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, omwafiira abantu abasukka 20.
Emisango emirala kuliko obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju, okugezaako okutta abantu era avunaanibwa n’omubaka Allan Ssewanyana omubaka we Makindye West n’abalala okuli Jackson Kanyike, Bull Wamala, Mike Sserwandda ne Jude Muwonge.

Emisango giri mu kkooti enkulu mu Kampala ewozeza ba kalintalo mu maaso g’omulamuzi Alice Komuhangi.
Olunnaku olw’eggulo, Ssegirinya yaleeteddwa ku kkooti nga bamukwatiridde ate Ssewanyana yabadde mu mmotoka ekika kya Alphard nga naye ali mu mbeera mbi era yabadde yeebase.

Ng’ali ku kkooti


Wadde balwadde, munnamateeka waabwe Samuel Muyizzi agamba nti yabadde alina okubaleeta, okulaga kkooti nti ddala ababaka balwadde, betaaga obudde, okufuna obujanjabi.
Muyizzi agamba nti Ssewanyana alina okugenda mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi okufuna obujanjabi nga yetaaba obudde obumala.

Omulamuzi yakkiriza okusaba kwabwe era yawadde Muyizzi olukusa okutwala Ssewanyana mu ddwaaliro nga bonna balina okudda mu kkooti nga 27, March, 2023.
Mu kkooti, bagezaako okwekeneenya obujjulizi obugenda okwesigamwako mu kiseera eky’okuwuliriza emisango gyabwe.
Obulamu bwa Ssegirinya!
Ssegirinya agamba nti wadde yavudde mu kkomera e Kigo, akyali mulwadde.
Bwe yabadde mu kkooti, yasobodde okulaga embeera gy’alimu.
Ssegirinya yasobodde okulaga endabika y’omubiri gwe era agamba nti yetaaga obujanjabi ate mu bwangu ddala kuba akyali munafu nnyo.
Wadde teyasobodde kwatuukiriza bulwadde, Ssegirinya alaga nti mugonvu era omubiri gwonna gujjudde ebintu ebyefanaanyirizaako enkovu.

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=7ngcy84hzxY