Omukyala ali mu myaka 27 addusiddwa mu ddwaaliro ng’ali mu maziga oluvanyuma lw’embwa okumutusaako obulabe.
Omukyala abadde akedde kugenda ku mirimu wabula abadde yakava awaka, kwekusanga embwa.
Emukozeeko obulabe era bambi omukyala alumiddwa ku mikono, ebitundu by’ekyama n’ebisambi.
Waliwo omusajja abadde mu mmotoka asobodde okutaasa omukyala era amangu ddala atwaliddwa mu ddwaaliro, okufuna obujanjabi.
Mu ddwaaliro, omukyala wakati mu kulukusa amaziga, abasawo basobodde okumwanguyira okufuna obujanjabi wabula abadde alumiddwa nnyo.
Bino byonna bibadde mu bitundu bye Chipoka mu ggwanga erya Malawi.
Olunnaku olwaleero, olunnaku lw’abakyala mu nsi yonna, olubaawo buli 8, Ogwokusatu.
Abasawo bagamba nti wadde embwa zirina obulabe obw’enjawulo ku muntu, singa kizuulwa nti zaali zigemeddwa, tezirina bulabe bwamaanyi ku muntu yenna wadde emutusizaako obulabe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=HDJyrANhNUI