Omuwala akutte muganzi we ng’ali mu kaboozi n’omukyala omukulu ‘Sugar Mama’.
Omuwala wadde abadde ayagala nnyo omusajja, alaga nti abadde anoonya bujjulizi okulaga famire y’omulenzi ne mikwano gye nti omusajja bwenzi.
Kigambibwa omuwala asobodde okudda awaka, kwe kusanga omusajja ng’ali kusinda mukwano era asobodde okweyambisa omukisa ogwo, okukwata vidiyo okulaga ensi.
Mu vidiyo, omusajja yabadde ali mu kwesanyusa, kwe kulaba omukyala ng’ali ku ssimu akwata akatambi.
Ng’omusajja omulala yenna, yavudde mu mbeera era yasobodde okuvaayo wakati mu busungu n’okuswala.
N’omukyala Sugar Mama yavudde mu mbeera olw’omuwala okumulemesa essanyu ly’omukwano era wadde mukyala akuliridde mu myaka, yabadde mukambwe nnyo.
Yavudde ku buliri, okulumba omuwala kuba yabadde alemeseza omulenzi okugenda mu maaso n’ekikolwa.

Ssenga Kawomera ayogedde!

Ssenga Kawomera agamba nti obwenzi bweyongedde ku myaka gyonna mu nsi yonna.

Ssenga agamba nti abaana abawala balemeddwa okunoonyereza okuzuula ebiyinza okuwa abasajja essanyu mu nsonga z’omu kisenge ate n’abalenzi bangi abato, balemeddwa okuwa essanyu abawala.

Agamba obutamanya, kivuddeko abawala abato okunoonya abasajja abakulu ssaako n’abakyala abakulu mu myaka, okunoonya abalenzi abato.

Kigambibwa omulenzi munnansi w’eggwanga erya Ghana n’omuwala wabula ebikwata ku mukyala Sugar Mama tebimanyiddwa.

Obwenzi mu Bavubuka!

Abavubuka bangi bali mu laavu n’abakyala abakadde olw’okunoonya obulamu obulungi.

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DHxnfVq_Bmk