Bazungu bannansi ba America, abali ku misango gy’okutulugunya omwana, baziddwa ku limanda okutuusa nga 15, omwezi guno Ogwokusatu.

Abazungu bano okuli Mathias Spencer myaka 32 ne mukyala we Nicholas Spencer myaka 32 bali ku misango gy’okutulugunya omwana John Kayima Spencer myaka 10.

Abazungu bombi, baggya mu Uganda mu 2017 era batuukira mu kibuga Jinja ne bafuna Kayima okuva mu Welcome Ministries Jinja, okumulabirira mu 2018.

Wabula mu 2020, basenguka okudda e Naguru mu Kampala.

Mu kkooti, kigambibwa baali benyigidde mu kutulugunya Kayima, nga buli lunnaku, alina okulya emmere ennyogoga egiddwa mu firiigi, emisana asiiba bwereere, ekiro asula ku lubaawo nga tekuli wadde akafaliso ssaako n’okumukuba.

Poliisi yategezebwako ba neyiba okuli omusomesa, ng’omwana ali mbeera mbi ne bakola okunoonyereza ne bakwatibwa nga ne kkamera z’omu nju, zaaliko obujjulizi bwonna.

Wadde emisango gyabwe egy’okutulugunya omwana n’okuwamba, giri mu kkooti ya Buganda Road, baddukidde mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Isaac Muwaata nga basaba okweyimirirwa.

Mu kkooti, baleese abantu 4, okweyimirirwa kyokka oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Kyomuhendo Joseph, basabye omulamuzi okubawa akadde okwekeneenya ebiwandiiko byabaleteddwa era bonna baziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 15, omwezi guno Ogwokusatu.

Kigambibwa, abazungu abo, baalina abaana basatu (3) era bonna bali mikono gy’ebitongole ebikuuma ddembe kyokka okukwatibwa nga Viza zaabwe ezibakkiriza okusigala mu Uganda zagwako dda.

Oluvudde mu kkooti, munnamateeka w’omwana Kayima eyatulugunyizibwa Tumuhairwe Christine agamba nti omusango gutambula bulungi ddala era balina esuubi okufuna obwenkanya mu kkooti.

Oludda oluwaabi lugamba nti waliwo emisango gye bayinza okwongera ku bazungu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DHxnfVq_Bmk&t=100s