Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Ntungamo asindise ku limanda abayizi musanvu (7) aba Kyamate Secondary School.
Kigambibwa abayizi bonna 7, benyigira mu kwokya ebisulo by’abayizi bibiri (2) ne batta omuyizi Bunus Ankwatireire.
Mu kkooti, baguddwako omusango 1 ogw’obutemu, emisango 3 okugezaako okutta, omusango 1 ogw’okwokya n’emisango 175 okwonoona ebintu ebiri mu bukadde 475.
Oludda oluwaabi e Ntungamo nga lukulembeddwamu Laudelo Twinomugisha lugamba nti Wilber Tumushabe n’abalala okuli Kanyesigye Odongo Odamala, Anthony Arinaitwe, Arnold Tumwesigye, Elijah Arinaitwe, Joshua Asiimwe ne Twesigye Lawrence nga bonna bayizi mu S3, nga 26, February, 2023 ku ssomero lya Kyamate Secondary School, benyigira mu kwokya ebisulo by’essomero ne batta omwana.
Abayizi bonna bakkiriza emisango mu kkooti nga balina kulinda kkooti enkulu, okubawa ekibonerezo.
Omulamuzi Mariam Namubiru bonna yabasindise ku limanda mu kkomera lya Ntungamo okutuusa nga 27, March, 2023 kyokka Arinaitwe Aliajah yasindikiddwa mu kifo ekibudabuda abaana e Kabale kuba akyali mwana muto.
Mu Uganda, amassomero mangi gakutte omuliro era Poliisi egamba nti mu kunoonyereza kwabwe mulimu empalana, abayizi okwenyigiramu wadde byonna bimenya amateeka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=CKIHAiE4sh4