Poliisi y’e Kawempe ekutte n’eggalira omusumba Ssenfuma Robert ku nsonga z’okutulugunya abaana mu ggwanga.
Omusirikale wa poliisi bwe yabadde atambuuza emirimu gye mu Kampala yasisinkanye omwana Nassande Sandra myaka 10 ku “Centenary park” era namutwala ku Poliisi eri ku luguudo lwe Jinja Road bakole okunoonyereza.
Kizuuliddwa nti Nassande abadde abeera Kawempe n’omusumba Ssenfuma nga kigambibwa Ssenfuma yamugya mu kyalo mu bazadde bwe yali amusuubiza okumuwa basale okusoma ng’amaze okusoma Pulayimale.
Okusinzira ku ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Ssenfuma teyakoze nga bwe yasuubiza eri abazadde.
Omwana Nassande abadde abeera awaka okutuusa lwe yasindikiddwa mu Kampala okutambuza ‘CD’ z’ennyimba okufuna ku ssente.
Mu sitetimenti, Nassande agamba nti omusumba Ssenfuma abadde amukuba emiggo singa addayo awaka nga tewali CD yonna etundiddwa era y’emu ku nsonga lwaki yadduse awaka ng’akooye embeera embi.
Mu kunoonyereza, Poliisi yatuuse mu maka ga Ssenfuma era yazudde abaana abalala okuli Namutebi Precious, Muwanguzi Favor, Kirabo Justin ne Mukisa Mercy.
Owoyesigyire agamba nti abaana bakebeddwa ng’ekirungi tewali mwana yenna yasobezebwako nga bali mu ntekateeka okunoonya bazadde baabwe.
Abaana bagibwa mu bitundu bye Luweero, Masaka, Mukono n’ebitundu ebirala.
Poliisi ewanjagidde bannayuganda okukola okunoonyereza ku bantu abavaayo nga basuubiza okuyamba abaana baabwe, okwewala ebikolwa nga ebya Ssenfuma.
Mu kiseera kino Ssenfuma ali mu mikono gya Poliisi nga n’abaana basindikiddwa mu kifo ekibudabuda abaana okuyambibwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rFROuRjG28Q
Bya Nakimuli Milly