Hamza Mwebe eyali akwatiddwa ku by’okutta eyali addumira Poliisi y’e Buyende Muhammad Kirumira ne mukwano gwe omukyala Resty Nalinya, tamanyikiddwa gyali.

Kirumira bukya attibwa mu 2018, tewali muntu yasingisiddwa musango gwonna ku by’okumutta.

Omusango guli mu kkooti enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Margaret Mutonyi.

Nga 23, Desemba, 2022, omulamuzi Mutonyi yayimbula Mwebe, olw’oludda oluwaabi okulemwa okuleeta obujjulizi obulaga nti yeenyigira mu by’okutta Kirumira.

Wadde Mwebe yayimbulwa, aba yakafuluma kkooti, abasajja abaali batambulira mu mmotoka ekika ‘Drone’ baddamu ne bamukwata, natwalibwa mu kifo ekitamanyiddwa.

Wabula bukya atwalibwa, aba famire ne bannamateeka bakyasobeddwa era bakyebuuza, ani yatwala omuntu waabwe.

Munnamateeka Zefania Zimbe, agamba nti batambudde ku Poliisi ez’enjawulo omuli Kawempe, Kampala mukadde, Kibuli , Mbuya n’awalala naye bakyalemeddwa okuzuula wa Mwebe gye yatwalibwa.

Munnamateeka Zimbe agamba nti ekisigalidde, kuddukira mu kkooti, okuloopa Gavumenti okuleeta omuntu waabwe (Mwebe) mu mbeera yonna mwali.

Okubyogera, abadde mu kkooti, okuddamu okuwuliriza emisango gye gimu kuba Abubaker Kalungi akyali mu kkomera era ali mu kwewozaako.

Mu kkooti, Zimbe era agamba nti ne Kalungi talina misango, tewali bujjulizi bulaga nti alina kyamanyi ku by’okutta Kirumira.

Zimbe alemeddeko nti Kalungi yatulugunyizibwa okukiriza omusango naye talina musango.

Obujulizi bulaga nti Kirumira ne Mbabazi baakubwa amasasi 20 agaabattirawo bwe baali mu mmotoka e Bulenga mu September, 8, 2018.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rFROuRjG28Q