Kyaddaki omuyimbi Nanyanzi Rahma amanyikiddwa nga Rahma Pinky afunye akaseko ku matama oluvanyuma lw’okufuna managimenti empya.

Kigambibwa nti Pinky asayininze endagaano n’ekitongole ekya “The White Lions Umbrella”  okuva e Bungereza nga kigenda kuyambako okutumbula ekitone kye eky’okuyimba n’okutumbula ennyimba ze, okusasula ssente za situdiyo okukwata ennyimba, okukola vidiyo n’okutumbula ennyimba mu nsi ez’enjawulo.

Yali mu kibiina ki “Team No Sleep” ekikulemberwa Jeff Kiwa ku ntandikwa y’omwaka oguwedde ogwa 2022 oluvanyuma lw’omuyimbi Sheebah Kalungi okuvaayo nategeeza nti takyali mu kibiina ekyo mu December wa 2021.

Kigambibwa Pinky yali aleeteddwa okudda mu bigere bya Sheebah n’okuvuganya Sheebah mu kisaawe ky’okuyimba kyokka Jeff yagoba Pinky mu kibiina mbu yali asukkiridde okusiwuuka empisa nga n’obwenzi busukkiridde, okuleeta abasajja ab’enjawulo mu nnyumba ssaako n’okunywa shisha.

Oluvanyuma Pinky okugobwa mu ‘Team No Sleep’, abadde talina manejja era abadde ayimba yekka nga n’okuyimba tekutambula bulungi omuli n’okufuna emirimu okuyimbira abantu.

Ennyimba za Pinky

Jeff Kiwa yalwana nnyo okutumbula ekitone kya Pinky era mu kiseera ng’ali ‘Team No Sleep’, yakola ennyimba ez’enjawulo omuli Walwawo, Tontankuula, Laga kumaanyi, Superstar, Tukimala ne Picha lwe yayimba ne Grenade Official era asobodde okuwangula ‘Award’ ez’enjawulo n’okusingira ddala mu Zzina Awards, okulaga nti kati muyimbi wa njawulo nnyo.

Alina ennyimba endala wadde abadde talina manejja omuli Kwata Love ne Kilombe ky’azaabu.

Jeff Kiwa nga Manejja

Jeff Kiwa asobodde okuyamba abayimbi bangi nnyo okutumbula talenti zaabwe n’okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba.

Abamu ku bayimbi mwe muli Radio ne Weseal, Sheebah Karungi, Pallaso, Kabako, Grenade Official, omugenzi AK47 eyali muto wa Jose Chameleone n’abalala bangi nnyo.

Waliwo ebigambibwa nti Pinky yaweereddwa ssente obukadde obusukka 50 okuva mu ‘The White Lions Umbrella’ okwenazaako ennaku.

Ebitongole ebirala ebizze bisayininga abayimbi nga basubiziddwa okubatunda ensi yonna kuliko Black Market Records omwali Nina Roz , Bruno K ne Daddy Andre.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=3P3zUVjof5c

Bya Nakimuli Milly