Kkooti enkulu mu Kampala ekkiriza abazungu abaakwatibwa ku misango gy’okutulugunya omwana, okweyimirirwa.

Abazungu bano okuli Mackenzie Leigh Mathias Spencer myaka 32 ne mukyala we Nicholas Spencer myaka 32 bali ku misango gy’okutulugunya omwana John Kayima Spencer myaka 10.

Abazungu bombi, baggya mu Uganda mu 2017 era batuukira mu kibuga Jinja ne bafuna Kayima okuva mu Welcome Ministries Jinja, okumulabirira mu 2018.

Nga bali mu laavu

Wabula mu 2020, basenguka okudda e Naguru mu Kampala okutambuza emirimu gyabwe.

Mu kkooti, kigambibwa baali benyigidde mu kutulugunya Kayima, nga buli lunnaku, alina okulya emmere ennyogoga egiddwa mu firiigi, emisana asiiba bwereere, ekiro asula ku lubaawo nga tekuli wadde akafaliso ssaako n’okumukuba.

Wadde sabiiti ewedde, kkooti ya Buganda Road eyabadde akubirizibwa akulira abalamuzi ba kkooti ento Sarah Tusiime, yabasindise mu kkooti enkulu ewuliriza emisango gya bakalintalo n’abatujju okwewozaako ku misango 5 okuli okukusa n’okutulugunya omwana, okusigala mu Uganda nga bakola nga tebalina biwandiiko, okubeera mu Uganda mu ngeri emenya amateeka, nate omulamuzi wa kkooti enkulu Isaac Muwaata, akkiriza okusaba kwabwe.

Abazungu bombi, basabiddwa ssente obukadde 50 buli omu ez’obuliwo ate ababeyimiridde n’abo obukadde 50 ezitali za buliwo.

Munnamateeka w’omwana Christine Tumuhairwe agamba nti balina esuubi okufuna obwenkanya mu kkooti wadde bakkiriziddwa okweyimirirwa kuba kiri mu mateeka ga Uganda.

Ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=CKIHAiE4sh4&t=8s