Maama w’omugenzi Emmanuel Mayanja eyali amanyikiddwa ennyo nga AK47, Prossy Mayanja akangudde ku ddoboozi lwa Poliisi okuzanyira mu nsonga za mutabani we.
AK47 yafa mu March, 16, 2015 e Nsambya mu Kampala oluvanyuma lw’okusangibwa ng’agudde mu kiyigo mu bbaala ya Denjavu eyali e Kansanga mu Kampala.
Wabula mu kusabira omwoyo gwe ku kyalo Kalangaro e Mityana, okusaba kwetabiddwako abantu ab’enjawulo omulim famire ye yonna, abayimbi ab’enjawulo ssaako n’abatuuze.
Mu kusaba, maama Prossy agamba nti yali asuubira okufuna alipoota ya Poliisi ku nfa ya mutabani we wabula yalemwa okufuna wadde ekiwandiiko kyonna okuva ku Poliisi.
Maama agamba nti wadde yatambula ku Poliisi ez’enjawulo omuli Kibuli ne Katwe, yalemwa okufuna alipoota.
Agamba nti ku Poliisi e Katwe, omusirikale yamutabukira nti anoonya ki kuba mutabani we yaffa, alipoota egenda kumuyambaki?
Okuva olwo, maama Prossy agamba nti yasalawo okwesonyiwa ensonga za Poliisi ku nfa ya mutabani we kati ali ku ddimu lya kusabira mwoyo gwa mutabani we AK47, awumule mirembe.
AK47 yali avuddeyo mu kisaawe ky’okuyimba era weyafiira, yali alina ennyimba ez’enjawulo n’ekolaba n’abayimbi ab’enjawulo omuli ne mukulu we omuyimbi Dr. Jose Chameleone.
Ezimu ku nnyimba mwe muli Usiende, Bayunda ng’ali ne Chameleone, Champion, Kidandali, Mbeera ya nsi, Mussajja watu ne King Saha, Ndi Mulokole n’endala.
AK yali muzadde era yaleka namwandu Nalongo Maggie Kiweesi n’abaana basatu (3).
Wiiki ewedde, AK47 yawezeza emyaka munaana (8) ng’ali mu ttaka.

Eddoboozi lya maama Prossy Mayanja

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=CKIHAiE4sh4&t=8s