Poliisi mu disitulikiti y’e Namutumba etandise okunoonyereza ku kyaviriddeko okufa kw’omwana James Mukama eyasangiddwa nga yeetugidde mu kaduukulu k’ekkomera ku Mmande nga 27, March, 2023.
Mukama James abadde asoma S2 ku somero lya Busembatia Secondary School mu kibuga kye Busembatia mu disitulikiti y’e Bugweri nga yali yakwatibwa ku Lwokutaano nga 24, March, 2023 ku bigambibwa nti yabba amasepiki(2) ne ppaasipooti y’omu ku batuuze mu kibuga kye Bugobi.
Bridgette Nabudo muganda w’omugenzi agamba nti bwe yabadde akyaddeko e Namutumba, yakizudde nti mugandawe Mukama yabadde akwatiddwa ku nsonga ezekuusa ku bubbi.
Nabudo wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yabadde alina okugenda mu Poliisi, okulaba ku muganda we. Agamba nti yabadde amaze okufuna amawulire agalaga nti muganda we si muntu mubbi nga balinda kkooti okusalawo kyokka yafunye essimu okumutegeeza nti asangiddwa nga yeetugidde mu kaduukulu.
Okunoonyereza kulaga nti Mukama abadde mulimi era abadde alima ebintu eby’enjawulo okunoonya ‘School fees’ okusoma.
Mu kiseera kino aba famire bagamba nti banoonya bwenkanya, okutegeera engeri omuntu waabwe, gye yafiiridde mu kkomera.
Omulambo gwa Mukama gwasindikiddwa mu ddwaaliro lye Namutumba okwekebejjebwa naye famire eremeddeko, eyagala okutegeera oba ddala Mukama yabadde mu kaduukulu ka Poliisi yekka ssaako n’okutegeera omusibe eyabadde ku mulimu kuba yalemereddwa okukola omulimu gwe, ekyavuddeko omwana okwetta.
Ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=T17xPvv4l_I