Joy Biira nga mutuuze mu zzooni y’e Nabisaalu Wasswa e Makindye mu Kampala, akwatiddwa Poliisi y’e Katwe ku misango gy’okusalako bba ebitundu by’ekyama.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, nga 26, March, 2023 omusajja Baluku yakomyewo awaka nga yenna atamidde, kwe kutandiika okulwana ne mukyala we.
Omusajja yabadde alumiriza omukyala okuba n’abasajja ab’enjawulo.

Biira ali ku Poliisi y’e Katwe


Kigambibwa wakati mu kulwana, Baluku yakutte omukyala Biira obulago era yabadde amutuga.
Omukyala mu ngeri y’okwetaasa, kigambibwa yakutte akambe, kwe kusalako bba ebitundu by’ekyama.
Omusajja Baluku yafudde nga bagezaako okumutwala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okufuna obujanjabi.
Enanga agamba nti Baluku yavuddemu omusaayi mungi era kyavuddeko okufa amangu.
Ku lwa Poliisi, Enanga awanjagidde bannayuganda okukomya okutwalira amateeka mu ngalo wabula okweyambisa abakulembeze ku kyalo omuli ne Poliisi singa bafuna ekizibu kyonna mu bufumbo.
Biira ali ku Poliisi e Katwe ku misango gy’okutta era essaawa yonna, bamutwala mu kkooti.
Okunoonyereza mu bitongole ebikuuma ddembe n’okusingira ddala Poliisi, kulaga nti obwenzi kyekisinze okuvaako obuzibu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=fWgIDif6r9o&t=41s