Kyaddaki Poliisi y’e Masaka ekutte ababbi abagambibwa okubba ebisolo okuli ente, embizzi n’embuzi oluvanyuma lw’okusangibwa ne ssepiki omuli ennyama y’embizzi, mu kikwekweeto ekikoleddwa Poliisi n’abatuuze mu kiro ekikeeseza leero.
Mu kikwekweeto, abakwate kuliko Nsubuga Sam n’omulala ategerekeseeko erya Fred nga kivudde ku mutuuze omukyala Zawedde Resty, omutuuze ku kyalo Butenga C mu disitulikiti y’e Bukomansimbi okuddukira ku Poliisi okuyambibwa.
Ku Poliisi, Zawedde yategezezza nti ababbi basobodde okutwala ebisolo bye omuli embizzi era abasirikale baasitukiddemu okunoonya ababbi n’okuzuula ebisolo byonna.
Twaha Kasirye, omwogezi wa Poliisi mu bendobendo lye Masaka agamba nti ebiriwo biraga nti ennyama y’embizzi mu ssepiki eteeberezebwa okuba emu ku mbizzi ezabiddwa.
Wadde babiri (2) batwaliddwa ku Poliisi y’e Butengo okuyambako mu kunoonyereza, Kasirye awanjagidde abatuuze abalina amawulire okuvaayo okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.
Mungeri y’emu agamba nti enkolagana ennungi n’abatuuze, kigenda kuyamba nnyo okulwanyisa abazzi b’emisango mu kitundu kyabwe omuli n’ababbi abegumbulidde okuddamu okubba ebisolo by’abatuuze.
Ku lwa Poliisi, Kasirye avumiridde eky’abatuuze ate okuddamu okutwalira amateeka mu ngalo kuba kiremesa Poliisi okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Ku Lwomukaaga, nga 26, March, 2023, abatuuze ku kyalo Nninzi mu ggoombolola y’e Kaliisizo mu disitulikiti y’e Kyotera batwalidde amateeka mu ngalo ne bookya emmotoka y’obuyonjo ku bigambibwa nti mwabaddemu ababbi b’ebisolo.
Mu kiseera kino waliwo abatuuze abasula n’ebisolo mu nnyumba omuli embuzzi, Ente olw’ababbi abeyongedde mu kitundu kyabwe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=tnCo0SSfeqg
Bya Nakimuli Milly