Omukyala atabukidde bba lwa vidiyo mu ssimu mu bitundu bye Bulenga mu disitulikiti y’e Wakiso.
Omukyala ategerekeseeko erya Jackie avudde mu mbeera oluvanyuma lw’okuzuula nti bba, Ssemakula alina omukyala omulala.
Jackie agamba nti Ssemakula abadde ayongedde okukyuka mu nneyisa nga n’ensonga z’omu kisenge, takyafaayo.
Wiiki ewedde, Jackie yasobodde okweyambisa omwana omukulu myaka 5, okufuna paasiwaadi ya bba.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Ssemakula bwe yabadde agenze okunaaba, Jackie yafunye omukisa okukebera essimu ya bba era yatuukidde mu vidiyo.
Jackie yagudde ku vidiyo nga bba ali mu kusinda mukwano n’omuwala omulala.
Mu vidiyo, Ssemakula yabadde n’omuwala mu bifo eby’enjawulo, okulaga nti ddala laavu eri mu 100.
Wakati mu maziga, Jackie yagudde ku vidiyo nga bba akola ebintu eby’enjawulo mu kikolwa ky’omukwano.
Yalumbye bba mu kisenge, okunyonyola ebikwata ku vidiyo kyokka Ssemakula yamutabukidde nti lwaki akutte ku ssimu ye?
Jackie yavudde mu mbeera, okutabukira Ssemakula era yabadde agezaako okuyita baneyiba, omusajja yafulumye ennyumba era yalinye bodaboda okugenda.
Ng’omukyala omulala yenna, ne Jackie yasigadde mu maziga olw’okuzuula nti bba musajja mwenzi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=L0LHoLfKr3g