Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu, ekyavuddeko ekizimbe okubadde Loi-Lung Restaurant e Kansanga okumpi ne Kampala International University mu maaso ga Palm village shopping Mall ku luguudo lwe Kansanga – Ggaba e Makindye mu Kampala okubuutikira abatuuze.

Ekizimbe kyagudde mu kiseera ng’abantu balaba omupiira wakati wa Arsenal ne West Ham.
Okunoonyereza kulaga nti ekifo kibadde kiddukanyizibwa bannansi ba South Sudan.


Wadde Poliisi yasobodde okwanguwa okutaasa obulamu bw’abantu, abantu 4 baddusiddwa mu ddwaaliro lya Mukwaya e Nsambya nga bali mu mbeera.
Omuntu omulala Ayuer Mario nga naye munnansi wa South Sudan, yakoseddwa nnyo era yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Ayuer Mario abadde musajja muwagizi wa Arsenal nnyo era okuva ku ntandikwa y’omwaka guno, abadde alaga nti Arsenal erina okuwangula ekikopo ekyembi afudde essuubi likendedde.

ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti omulambo gwa Mario gukyali mu ddwaaliro e Mulago era okunoonya nga Poliisi bw’enoonya aba famire.


Mu kiseera kino Poliisi egamba nti egenda kunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavudde ekizimbe okutta omuwagizi wa Arsenal.
Olunnaku olw’eggulo yagudde maliri ne West Ham ggoolo 2-2.
Mu kiseera kino Arsenal erina obubonero 74 okuva 31 ate Manchester City ekyali mu Kyakubiri n’obubonero 70 okuva mipiira 30. – https://www.youtube.com/watch?v=KR7ImCwBk3I