Poliisi mu ggwanga erya Kenya, ekutte omuvubuka myaka 20 ku misango gy’okubba obuwale bw’abakyala obw’omunda.

Joel Kimurgor nga mutuuze ku kyalo Tegeyat mu bitundu bye Nandi, yakwatiddwa.

Abakyala, baludde nga bemulugunya ku bantu, abasukkiridde okwanula empale zaabwe ku waya n’okusingira ba ‘Slay Queen’.

Omuze guzze nga gweyongera, nga batya n’okwanika engoye ebweru.

Wabula mu kikwekweeto ekikoleddwa ku kyalo, omukwate Kimurgor agamba nti muganzi we abadde buli wiiki amusaba empale empya, okulaga nti ddala amwagala nga y’emu ku nsonga lwaki, abadde yeegumbulidde okubba nika z’abakyala.

Mu nnyumba, asangiddwamu n’ekiveera ky’empale, ng’ezimu, addamu okuzooza n’okuzigolola, okuwa muganzi we.

Mungeri y’emu, sabiiti 2 eziyise, abadde yaggulawo ekifo mu Katale, okutunda empale enkadde ng’ezimu ku zibiddwa nga nkadde ennyo, azitunda mu kikadde ate empya ng’aziwa muganzi we.

Abatuuze, bagamba nti baludde nga bali kutya nga balowooza nti omuntu atwala empale zaabwe, ali mu bikolwa by’okweraguza.

Joel Kimurgor bamutwala mu kkooti ku misango gy’obubbi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=q2-T2uPONrE