Poliisi mu bitundu bye Kyotera enoonya omukyala Namubiru Jackie omutuuze ku kyalo Lwanzi “B” cell mu Tawuni Kanso y’e Mutukula mu disitulikiti y’e Kyengera ku misango gy’okutta omuntu.

Omukyala Namubiru yalumbye mukyala munne Nakimera Lydia myaka 23, ng’abadde alina saluuni ku ssaawa 10 ez’akawungeezi namufumita empiso y’obutwa.

Okunoonyereza kulaga nti Namubiru abadde alumiriza Nakimera okumwagalira omusajja.

Mu kusooka, Nakimera yatwaliddwa mu kalwaliro ka Bulamu kyokka embeera yeeyongedde okwonooneka ne bamutwala mu kalwaliro ka Byansi mu kibuga Masaka okutaasa obulamu.

Yafiiridde mu ddwaaliro ng’abasawo bakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti Namubiru aliira ku nsiko era Poliisi ekola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu.

Enanga awanjagidde abatuuze mu bitundu bye Kyotera ne Masaka okuyambagana okunoonya Namubiru ali ku misango gy’okutta omuntu.

Ate Poliisi y’e Wakiso ekutte Basikaali 2 okuva mu kitongole ekikuumi ki Marginal Security Company Limited ku misango gy’okusobya ku bakyala babiri (2) mu kibira.

Basikaali kuliko Khaukha Cornelius ne Okello Julius.

Okunoonyereza kulaga nti basobeza ku bakyala okuli myaka 23 ne 19.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti abakyala bagenze mu kibira okukyaba enku mu kibira kya Tebagwa Robert ne basangayo Basikaali 2.

Fred Enanga

Abakyala bagamba nti waabaddewo okubatisatiisa nti bagenda kubatta, kwe kubalagira okugyamu engoye zonna.

Oluvanyuma bonna basobezeddwako okumala eddakika eziwera.

Abakyala bano baddukidde ku Poliisi y’e Namusera okuloopa era amangu abasirikale baasitukiddemu bunnambiro okunoonya Basikaali ne bakwatibwa.

Enanga agamba nti essaawa yonna babatwala mu kkooti ku misango gy’okusobya ku bakyala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=nkkYqO86_Ms