Mu kiseera ng’ebitongole ebikuuma ddembe bikyanoonyereza ekyavuddeko omusirikale wa UPDF Private Sabiiti Wilson okutta Minisita omubeezi ku nsonga z’abakozi Charles Okello Engola, olunnaku olwaleero tukuleetedde amakaage agali e Kyanja.
Minisita Engola yakubiddwa amasasi, bwe yabadde yeteekateeka okugenda mu State House.
Abatuuze bagamba nti Private Sabiiti yabadde alaga nti akooye okubanja ssente ate nga naye alina ebizibu.

Minisita Charles Engola yattiddwa

Waliwo ebigambibwa nti yabadde abanja emyezi egiwerako, nga y’emu ku nsonga lwaki yeekyaye.
Mu kiseera kino, Gavumenti tennaba kufulumya ntekateeka y’okuziika Minisita Engola n’omusirikale Private Sabiiti.
Kigambibwa abadde akulungudde emyaka egisukka 10 nga mutuuze w’e Kyanja mu Divizoni y’e Nakawa mu Kampala.


Y’omu ku batuuze abalina amaka agali mu biriyoni ya ssente ezisukka mu 2.
Ebyafaayo bya Minisita Engola!
Charles Okello Engola yazaalibwa nga 12, October, 1958 era afiiridde ku myaka 64. Yamula amaggye ku ddaala lya Colonel.
Yazaalibwa mu disitulikiti y’e Oyam.
Nga 6, June, 2016, yalondebwa ku bwa Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda okudda mu bigere bya General Jeje Odongo, eyalondebwa nga Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga.
Wakati wa 2016 – 2021, yali mubaka wa Palamenti ow’e Oyam North mu Palamenti y’e 10.
Ng’ali maggye, yali addumira akabinja UPDF 501 Brigade ku kitebe kye Opit mu disitulikiti y’e Gulu. Akabinja, kayambako nnyo mu kulwanyisa abatujju bakabinja ka Lord’s Resistance Army era amangu ddala yakuzibwa okudda ku ddaala lya colonel, kwe kuwumula amaggye mu 2007.
Yamala emyaka 10 nga ssentebe wa LC 5 owa disitulikiti y’e Oyam.

Vidiyo!