Ssemaka abadde asukkiridde okuganza bakabasajja aswadde mu maaso g’abatuuze era alabuddwa nti bayinza okumugoba ku kyalo.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, ssemaka Hakim ng’avuga bodaboda mu bitundu bye Kawolo, yakwatiddwa lubona ng’ali mu loogi ya Style Lodge ku kyalo Kawolo.
Abatuuze bagamba nti Hakim wadde ssemaka ng’alina abakyala babiri (2), abadde asukkiridde okusigula bakabasajja n’okuganza abawala abato.
Olunnaku olw’eggulo, ssemaka taata Hassan yafunye essimu nti mukyala we, alabiddwako ng’ali ne Hakim, bagenda mu loogi.


Taata Hassan agamba nti yafunye bodaboda okulondoola entambula za mukyala we kuba yabadde amukubidde essimu nti mulwadde agenze mu ddwaaliro.
Okutuuka ku loogi, nga Pikipiki ya Hakim eri munda, ng’akabonero akalaga nti ddala ali n’omukyala munda mwali.
Hassan yabadde ku loogi, okumala eddakika ezisukka 20 era yabadde amaze okutegeeza famire y’omukyala, abamu ku batuuze ku kyalo ssaako ne mukulu we.


Agamba nti abadde aludde ng’afuna amawulire nti omukyala alina abasajja abalala era y’emu ku nsonga lwaki yamusaako abantu okumulondoola.
Oluvanyuma lw’abantu abasukka 20 okutuuka, baayingidde mu loogi ng’abamu balina amassimu, okukwata vidiyo zonna.
Okutuuka mu loogi, ng’omukyala ali kusinda mukwano ne Hakim era mu kiseera ekyo, omu ku bakozi b’oku loogi, yabadde akwatiddwa okubalaga ekisenge Hakim mwali n’omukyala.
Taata Hassan yavudde mu mbeera nga yebuuza obwenzi b’omukyala era amangu ddala yasabiddwa obutadda waka kuba kati afunye omusajja omulala.


Wadde yabadde agezaako okwetonda, baganda b’omusajja n’abo baavudde mu mbeera ne bamutabukira nti ayinza n’okulwaza muganda waabwe.
Oluvanyuma lw’okukwata vidiyo okufuna obujjulizi, baavudde ku loogi buli omu okudda awaka nga Hakim n’omukyala bibasobedde ku loogi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=2rUIJGYgolA