Poliisi egamba nti omukyala Nabirye Ester eyakwatiddwa ku misango gy’okuliisa omwana empitambi, aguddwako emisango gy’okutulugunya omwana myaka 4.
Nabirye myaka 26 nga mutuuze we Mafubira mu bitundu bye Jinja yakwatiddwa era yasindikiddwa ku kitebe kya Poliisi e Jinja.
Okunoonyereza kulaga nti omusajja Mugabi Sulaiti yafiirwa omukyala era ng’omusajja omulala yenna omuvubuka, yali alina okunoonya omukyala omulala.
Mugabi nga musajja makanika mu bitundu bye Mafubira, yawasa Nabirye okudda mu bigere bya mukyala we.
Wabula baneyiba bagamba nti Nabirye abadde asukkiridde okutulugunya omwana nga buli lunnaku bw’aba agenda ku mulimu, omwana alina kusigala bweru kabalaza, ennaku ezimu tamuwa mmere ate abadde asukkiridde okumukuba.
Omu ku batuuze yasobodde okukwata vidiyo ng’asaba kuyambibwa olwa Nabirye okulagira omwana okulya empitambi.

Vidiyo y’omwana


Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti Poliisi yasobodde okweyambisa vidiyo okunoonyereza okuzuula omukyala era mu kiseera kino, ali mu mikono gyabwe.
Enanga agamba nti Nabirye okuliisa omwana empitambi, kikolwa kya butemu era kabonero akalaga ettima mu bakyamu abamu.
Awanjagidde abatuuze okwongera okuvaayo okuyamba ku Poliisi, abakyala nga Nabirye okutwalibwa mu kkooti kuba tebagwanidde kusigala mu bantu.
Mu kiseera kino tekimanyiddwa oba ne taata w’omwana Sulaiti naye alina emisango kuba ebiriwo biraga nti naye abadde asukkiridde okulagajjalira omwana we.

Ebirala – https://www.youtube.com/watch?v=4NbycSTmzkg&t=1s