Ebipya bizuuse ku musirikale Ivan Wabwire eyakuba munnansi wa Buyindi amasasi n’amutta .
Wakati mu kunonyereza kizuuliddwa nti Wabwire yafulumya amasasi 12, nga Uttam Bhandari yamukuba amasasi 9.
Nga, 14, May, 2023, Poliisi yasobodde okukwata Wabwire ku musango gw’okutta omuntu n’amasasi nga yasangidwa mu disitulikiti y’e Busia bwe yabadde agezaako okudduka okuyingira eggwanga lya Kenya.
Fred Enanga omwogezi wa poliisi mu ggwanga agamba nti Wabwire yaleeteddwa ku kitebe kya poliisi e Kampala era yatwaliddwa eri abasawo abakugu okwekebejjebwa obwongo oba ddala bukola bulungi nnyo.

Enanga agamba nti kyazuuliddwa nti Wabwire talina kizibu bwonna ku mutwe era yasse omuntu nga buli kikolwa, talina kwejjusa kwonna.
Okunoonyereza kulaga nti nga 5, August, 2020 Wabwire yasobola okwewola ssente 1,000,000 okuva mu TFS Financial services ng’alina okusasula ssente zonna mu bbanga lya mwaka gumu(1) n’amagoba ga mitwalo 32.
Nga 05, May, 2021 Wabwire yaddamu okwewola ssente 1,000,000 era mu TFS Financial Services wabula yalemererwa okuzaayo ssente.
Nga 11, May, 2023 Wabwire yasobola okusisinkana Bhandari ne boogere ku ngeri gy’agenda okusasula ssente ezibanjibwa wabula baalemwa okukaanya nga kigambibwa ssente zeyali asuubira, zaali ziyitamu emitwalo 20.
Kigambibwa nti Wabwire yali ayagala kwewola ssente endala okuva mu banka ya Stanbic esangibwa ku William street wabula yalemesebwa olw’ebbanja ly’alina mu TFS Financial services.
OKUFUNA EMMUNDU.
Enanga agamba nti okunoonyereza kulaga nti Wabwire yasobola okubba emundu kika kya AK-47 okuva ku musirikale Constable Steven Muramba gwasula naye munyumba bwe yali agenze mu ddwaaliro okulaba ku mwana we eyali omulwadde.
Wakati mu busungu Wabwire yasobola okulinya pikipiki okutuuka ku kizimbe kya Raja Chambers nayingira mu offiisi y’omuyindi Bhandari namukuba amasasi agamutirawo.
Mu kiseera kino Muramba yagobeddwa mu kitongole kya poliisi era wakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’okulagajjalira emmundu.
Enkya ya leero, Wabwire asuubirwa okutwalibwa mu kkooti ya Buganda Road ku misango gy’okutta omuntu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ee6pAwItF_E

Bya Nakimuli Emilly